Buli eyatawala amabaati avunaanibwe – Pulezidenti Museveni

Tetusobola kunyigiriza bantu mu misolo buli kadde – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anita Among; “Tetukigenderera kulumya Bannayuganda naddala bwekituuka ku musolo. Tulina abantu bangi abatutunuulidde era bwotandika okuggya omusolo ku mafuta g’ettaala ngolemereddwa okutwala amasanyalaze mu byalo, kati olwo nakomawo? Ndowooza nze nnumiriddwa ennyo olw’abantu bange obutaba n’amasanyalaze mu byalo. Tebasola nakwegulira Solar.”

Buli kyemulowooza nti kyange e Bungereza mutwale – Sipiika Among

Sipiika Anita Among avuddeyo ku kkoligo eyamuteekeddwako Gavumenti ya Bungereza; “Nawulidde nti nina ebyobugagga bingi nnyo e Bungereza nti era nina ne akawunti mu bbanka z’e Bungereza nnyingi. Ekyenaku nti nakagenda e Bungereza omulundi gumu . Sirinaayo yadde ka kappa. Sisaaliddwa yadde, era bwebaba balowooza nti ninayo ebyobugagga babitwale byonna balabe oba navaayo nenemulugunya. Ne […]

Poliisi y’ebidduka ekutte emotoka 93 mu Kampala

Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka SP kananura Michael yavuddeyo nategeeza; “Ekitongole kya Poliisi y’ebidduka kyakutte emotoka 93 olunaku lweggulo ku Poliisi ezenjawulo nga; Wandegeya, Katwe, Kabalagala, Kajjansi, Kawempe, Jinja Road, Kiira Division, Kira Road ne CPS. Emotoka ezakwatiddwa zibadde zirina obugombe bwa Poliisi mu bukyamu, ebitaala byawaggulu, amataala agakyuusiddwamu wamu n’okuvugira ku ludda lwebatalina kuvugirako. Ba […]

Omuntu alumiziddwa mu kabenje akagudde ku Kabakanjagala

Akabenje kagudde ku nkulungo ya Kabaka ku luguudo lwa Kabakanjagala motoka nnamba UAT 286J bweremeredde omugoba waayo nesaabala endala bbiri ne booda booda, omusaabaze abadde ku booda booda nemumenya okugulu. Ono addusiddwa mu ddwaliro okufuna obujjanjabi obusingawo nga ye omugoba w’emotoka adduse.

Burora akoze ekibiina ekikye ekya NRM-IR

Eyali RCC wa Lubaga eyawumuzzibwa Herbert Anderson Burora avuddeyo nalangirira ekibiina ekipya kyatuumye National Resistance Movement in Resistance ( NRM-IR) nategeeza nti kino kiwayi ekikutuse ku kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement – NRM okulwanyisa obuli bw’enguzi obuli mu Gavumenti ya NRM kuba ebadde mu buyinza kumpi emyaka 40 wansi w’obukulembeze bwa Yoweri […]

State House esabye ensimbi ezenyongereza obuwumbi 20

Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Municipality) avuddeyo nategeeza nti State House Uganda yasabye ensimbi ezenyongereza obuwumbi 18 mu obukadde 500 nga za ‘Classified expenditure’ n’obuwubmbi obulala 2 mu obukadde 700 nga zino zamisaala. Ono agamba nti singa Palamenti enaaba eziyisizza kiba kitegeeza nti State House esaasanya obuwumbi 2 n’obukadde 100 buli lunaku so nga enguudo […]

NUP etongozza okuzza obuggya enkalala za Bannakibiina

Ekibiina kya National Unity Platform olunaku olwaleero kitongozza omulimu gwokuddamu okuwandiisa Bannakibiina abapya ssaako naabo abakadde okusobola okuzza obuggya enkalala za Bannakibiina. Omukulembeze w’Ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine wamu ne Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya bebatongozza enteekateeka eno ku kitebe ky’Ekibiina ku Kavule e Makerere.

Baminisita muyise ekiteeso ekiggalawo Palamenti bwetuba tetulina kyetukola – Sipiika

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among; “Byonna byetusalawo wano mu Palamenti tubisalawo mu mutima mulungi. Naye bwetuwulira Bammemba nga boogera emboozi zamalwa mu Lukiiko lwa Baminisita nti waliwo abaweebwa enguzi wano, lwaki temujja nemubyogerera wano? Tukolera bantu ate nemudda eyo nemuwoza nti tugaana alipoota, tetulina kyetukola, bwetuba tetulina kyetukola muggaleewo Palamenti.”

Okuwulira okusaba kwa Bannakibiina kya NUP abasindikibwa mu ICD kwa nga 20-May

Omubaka Shamim Malende era Munnamateeka wa Bannakibiina kya National Unity Platform abasimdikibwa mu Kkooti ewozesa bakkalintalo eya ICD (International Crimes Division) okuli; Magala Umar, Sekidde Hamidu, Muhammad Kalyango, Issa Makumbi, Male sulaiman, Kairugala Wilber, Katumba Abdu, Katumba Abdallah ne Muyodi Hamidu ategeezezza nti Kkooti tesobodde kuwulira kusaba kwabwe okwokweyimirirwa olwokuba oludda olwaabi lubadde terunetegeka bulungi […]