Chairman Nyanzi agattiddwa ne Mukyala we olwaleero
Olunaku olwaleero Ssabakunzi wa National Unity Platform Nyanzi Fred Ssentamu lwagenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu nowuwe e Lubaga noluvannyuma bakusembeza abagenyi baabwe ku Freedom City. Abantu abenjawulo webali okuba nga abajulizi nga ne Pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nowuwe Barbie Kyagulanyi webali. Ssaabakunzi w’ekibiina kya National Unity Platform, Chairman Nyanzi Fred […]
Lwaki mutulemesa okulambula emirimu egikolebwa e Lubowa – Hon. Muwanga
Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti aka Public Accounts Committee Muhammad Muwanga Kivumbi, avuddeyo nategeeza nga okukyala kwebaali bategese okugenda okulaba emirimu gyokuzimba eddwaliro ly’e Lubowa wegituuse bwekusaziddwamu. Kivumbi ategeezezza nti Sipiika Aming yabalagidde bongezeeyo okulambula kuno kiwe Kkampuni enzimbi obudde okugulira Ababaka ebintu byebanayambala nga balambula ekifo awazimbibwa. Akakiiko kallina okugenda e Lubowa nga 12-April-2024 wabula […]
8 bakwatiddwa lwakukozesa kifuba nebasenda ettaka
Ettuntu lyaleero Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne bambega ba Uganda Police Force batutte abantu 8 mu Kkooti e Wakiso nga kigambibwa nti bano basengula abantu ku ttaka wamu n’okwonoona ebintu byabwe. Kigambibwa nti nta 6 April 2024, bano okuli; Nabwami Edith, Kakule David, […]
Ettaka ly’e Luzira terikyawera – Hon. Nambooze
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga mu ku ludda oluwabula Gavumenti era omubaka wa Munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke akubye ebituli mu alipoota ya Gavumenti ey’okusengula ekkomera ly’e Luzira eyaleeteddwa Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi eri Palamenti olunaku olw’eggulo gyagamba nti bino byooya bya nswa nga bweguzze guba ku […]
Sipiika alagidde Bannamateeka ba Palamenti okuggula omusango ku Observer
Sipiika wa Palamenti Anita Among alagidde ekitongole kya Palamenti eky’amateeka okuwawabira olupapula lwa The Observer nga agamba nti lusiga obukyaayi mu Bannayuganda nga lwagala okukyayisa Palamenti. Sipiika agamba nti olupapula luno lwawandiika nti Ababaka abamu baweebwa ekyoja mumiro okuba mu bitongole ebimu obutabiggalawo oba okubizza mu Minisitule ezibivunaanyizibwako. Sipiika yewuunyizza engeri oli gyayinza okugulirira Ababaka […]
Abazigu balumbye bbanka ya Equity e Soroti
Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno.
Malende abagidde abasuubuzi ekiwandiiko ekiraga enoongosereza ezirina okukolebwa mu tteeka ly’omusolo
Munnamateeka era Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende olunaku olwaleero asisinkanye Abakulembeze b’abasuubuzi mu Kampala nga bakulembeddwamu omwogezi wa KACITA Isa Ssekitto nabawa ekiwandiiko ekyoleka ebituli ebiri mu mateeka g’omusolo wamu n’ebiragiro ku nkola ya EFRIS nenoongosereza ezirina okukolebwa. Ekiwandiiko kino era gyoleka omulimu ogulina okukolebwa Palamenti, Minisita w’Ebyenfuna wamu n’ekitongole kya Uganda Revenue Authority […]
UNRA emaliriza okudaabiriza olutido olwabotose e Buddo
Kiwedde! Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byenguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA kivuddeyo nekitegeeza nga okudaabiriza olutindo olwaguddemu e Buddo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka bwekuwedde era nga kati emotoka zitambula bulungi.
Gavumenti yetaaga obuwumbi obusoba mu 227 okuggalawo UNRA
Dan Kimosho, Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti aka, Physical Infrastructure Committee avuddeyo nategeeza Palamenti nti singa baggalawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA, olwo ensimbi y’omuwi w’omusolo eziri eyo mu buwumbi 227 zezijja okugenda mukuliyirira ababadde abakozi b’ekitongole kino abanawummuzibwa singa Palamenti eyisa ekiteeso kyokuggalawo UNRA. Kimosho ayongeddeko nti […]