Bantiisatiisa okunkolako obulabe naye ndi mugumu – D/RCC Anderson Burora

Omutaka Lwomwa ayingiziddwa mu social club

Omutaka Lwomwa Eria Lwasi Buzaabo ayingiziddwa mu social club ya Pope Paul Hotel mu Ndeeba Buli Kika kirina ekibanja mu club eno era Abataka abakulu Ab’obusolya beebataba mu nkungaana z’ekibiina kino okubaako byebateesa ebitwala Ebika mu maaso. Ssentebe w’ekibiina kino Hon. Patrick Nsanja yakubirizza olutuula luno olwetabiddwamu Katikkiro eyawummula Eng. JB Walusimbi, Oweek Joyce Nabbosa […]

Batuyita bayaaye, kyebatulowooleza si kyetuli – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Batuyita abayaaye era naffe netukiriza erinnya lino. Kati tuutuno! Muyogeyoge bayaaye banange, tugenda mu maaso nokubalabisa nti kyebatulowooleza si kyetuli. Mbeenyumirizaamu nnyo; Hon. Joel Ssenyonyi ne Saasi Marvin. Mbayise ku party y’ekivvulu e London enkya (olwaleero).“

Nabalina ente enyingi batandike okuwa omusolo – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Among; “Ente baziggyako omusolo? Kituufu ‘informal sector’ naye bwetwogera ku kwongera ku bintu ebigibwako omusolo n’ente nazo muzongereko. Nina ente ezisoba mu 2000 naye tewali anzigyako musolo. Teri nayagala kumanya kyenfunamu kyenkana ki. Tuwongere ku bintu ebivaamu omusolo okusinga okunyigiriza abasuubuzi. Abantu balina ente nnyingi nnyo.”

Bank of Uganda eragidde aba Mobile Money okusaba ID omuntu yenna aweereza oba okuggyayo ssente ezisoba mu kakadde

Bank of Uganda eyisinza ekiragiro ekitandikiddewo okukola eri ba agenti ba Mobile Money bonna okwetoloola Eggwanga okutandika okusaba ID omuntu yenna ayagala okuggyayo oba okuteekayo ensimbi ezisukka mu kakadde akamu. BOU egamba nti kizuuliddwa nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde naddala ngabantu bakozesa mobile money omuli okuferera ku mutimbagano. Eyongerako nti waliwo ba agenti ba Mobile Money […]

LOP Ssenyonyi atikiddwa ku LDC olwaleero

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Joel Ssenyonyi olunaku olwaleero atikiddwa oluvannyuma lwokumalirirza emisomo. Ono amalirizza Postgraduate Diploma in Legal Practice okuva ku Law Development Centre. Yoga yoga Ssebo!

Omukuumi wa Ssaabaminisita Nabbanja abombye

Okunoonyereza kutandise ku ngeri omukuumi wa Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister, Emmanuel Atwiine eyamuwerekeddeko mu Ggwanga lya Amerika mu Kibuga New York okukiikirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu lukuuŋŋaana lwa United Nations High Level gyeyabuzeemu okuva mu woteeri gyabadde asula. Kigambibwa nti Atwiine yandiba nga yabulawo mu kiro ky’olunaku olwokubiri okuva mu woteeri e […]

Gavumenti eyagala ensimbi ezenyongereza ezisoba mu kesedde 1

Gavumenti olunaku olwaleero etaddeyo okusaba kwayo eri Palamenti ngesaba ssente ezenyongereza akesedde 1 mu obuwumbi 101 nga kuzino obuwumbi 578.4 zakuweebwa Mathias Magoola azimbe ekkolero ly’eddagala erigema wamu neryo erijanjaba mu Disitulikiti y’e Wakiso. Ensimbi endala obuwumbi 3 zakweyambisibwa okutegeka ebijaguzo by’olunaku lw’abajulizi e Namugongo omwaka guno era nga enteekateeka zino zakulondoolwa Ministry of Gender, […]

Pulezidenti Museveni aguddewo ebizimbe bya Kkooti ebiggya

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero aguddewo mu butongole ebizimbe 2 ebyamaka ga Kkooti Ensukkulumu wamu ne Kkooti Ejulirwamu mu Uganda. Bino byamazeewo obuwumbi 100 mu obukadde 500. Bya Christine Nabatanzi

Maama asudde omwana we ow’olunaku olumu mu kabuyonjo

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kayunga esanze akaseera akazibu okutawuluza omuwala Milly Mutoni 19, ku batuuze ababadde bataamye obugo ku kyalo Bwetyaaba mu Gombolola y’e Kayunga oluvanyuma lwa Mutoni okusuula omwana we ow’olunaku 1 mu kabuyonjo. Poliisi etaasizza ebbujje lino nerinyulula mu kabuyonjo, Mutoni naye atwaliddwa ki Poliisi. Bya Latifah Nalubowa