Pressure 247 aziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira

Poliisi ekutte ababadde babba ssente kuba mobile money

Ekitongole kya Uganda Police Force ekirwanyisa obuzigu obw’emmundu nobutujju ekya Counter Terrorism kizinzeeko ekibinja ky’ababbi ababadde babba ssente kuba mobile money ngabakozesa emmundu. Poliisi ngeyambibwako abavuzi ba booda booda esobodde okusalako emotoka ekika kya Noah nnamba UBN360N mwebabadde batambulira ku luguudo lwa Northern Bypass ku nkulungo y’e Naalya okukakana ngekutteko 2 ku babbi 4 ababadde […]

Tuvumirira ebigambo bya Waiswa Mufumbira – Mugwisa Mwamadi

Obwa Menah bwa Bugweri buvuddeyo nebufulumya ekiwandiiko nga bwetondera Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among olw’ebigambo ebyayogerwa omumyuuka w’omwogezi wa National Unity Platform Alex Waiswa Mufumbiro mukuziika Munnamateeka Waiswa Ramathan eyafiira mu kabenje. Mufumbiro yasaba Sipiika Among okwesonyiwa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga alekerawo okumwogerako ebikikinike kuba mukyala wa mirembe era yabesonyiwa.

Abagambibwa okuvuma Pulezidenti Museveni ku mukolo bakwatiddwa

Bammemba ba Crane Performers 8 bakwatiddwa lwakuweerekereza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bigambo bimunyomoola ku mukolo gwa Mbabazi gweyategese ngajaguza emyaka 50 mu bufumbo. Kigambibwa nti Pulezidenti bweyatandise okwogera ku ssaawa nga ttaano ezekiro bano balekaanye mu Runyakole nti; “Rutabandana Waturusya Rugahamuzindaro” ekivvuunulwa nti; “Oyogedde nnyo, tukooye, vva ku muzindaalo.” Lt Tonny Komakech, ow’eggye erikuuma Pulezidenti […]

Obwa Menah bwa Bugweri bwegaanye ebyokwetondera Sipiika Among

Obwa Menah bwa Bugweri buvuddeyo nebusambajja ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Mugwisa Mwamadi ngatgeeza nga obwa Menha bwa Bugweri webwetondedde Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among olw’ebigambo ebyayogerwa omumyuuka w’omwogezi wa National Unity Platform Alex Waiswa Mufumbiro mukuziika Munnamateeka Waiswa Ramathan eyafiira mu kabenje. Mufumbiro yasaba Sipiika Among okwesonyiwa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga alekerawo okumwogerako ebikikinike kuba […]

Sagenda mu nkiiko ebweru kuba Akakiiko tekalina ssente – Wangadya

Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya yavuddeyo nategeeza Akakiiko ka Palamenti nti teyasobola kugenda mu nkiiko emitala w’amayanja ezikwata ku ddembe ly’obuntu olw’ensonga z’ensimbi ezitaliiwo kumuusobozesa kutambula.

Bwemba ndi kkaada wa NRM lwaki akakiiko bakawa ssente ntono – Mariam Wangadya

Ssentebe w’akakiiko kalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya, avuddeyo neyewuunya abagamba nti ku mulembe gwe nga Ssentebe akakiiko keyoleso nnyo nga akawagira ekibiina kya National Resistance Movement – NRM nategeeza nti singa kibadde kityo akakiiko kandibadde kaweebwa ensimbi ezimala okukola emirimu nti naye tazirabako nga kyebasigalira kusabiriza mu bagabirizi […]

Amama Mbabazi ne mukyala we bajaguza emyaka 50 mu bufumbo

Eyaliko Ssaabaminsita wa Uganda Rt. Hon. John Patrick Amama Mbabazi ne Mukyala we Jacqueline Mbabazi olunaku olwaleero bajaguzza okuweza emyaka 50 mu bufumbo ngera emisa eyokwebaze ebadde ku All Saints Church, Nakasero. Bano bakubye buggya ebirayiro byobufumbo. Photo Credit: Nicholas Bamulanzeki

Abakozi 2 okuva ku Disitulikiti e Rakai bakwatiddwa

Deputy IGG, Anne Twino Muhairwe, olunaku lw’eggulo yalagidde Uganda Police Force okukwata Rose Yawe, Principal HR ne Aaron Kayinga, Senior HR okuva ku Disitulikiti y’e Rakai. Kigambibwa nti bano bekobaana okuteeka abakozi abempewo ku lukalala lw’abakozi ba Gavumenti besasula okukakana nga bafiirizza Eggwanga obukadde 638.

Abantu 3 bakwatiddwa ku bigambibwa nti benyigidde mukusaddaaka abaana 2 e Kiboga

Omwogezi wa Uganda Police Force mu ttundutundu lya Wamala Kawala Rachael avuddeyo nategeeza nga abasirikale okuva mu Crime Intelligence bwebakutte abantu 2 kubigambibwa nti benyigira mu ttemu ery’emirundi 2 mu Muluka gwe Kasega, mu Gombolola y’e Kapeke mu Disitulikiti y’e Kiboga nga 4-April 2024. Abakwatiddwa kuliko Sulaiman Ssentongo 32, omutuuze ku Kyalo Kirinda ne Namuleme […]