Omubaka Malende asiibuludde Abayisiraamu e Katwe Kinyolo
Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Shamim Malende olunaku lweggulo yasiibuludde Abasiraamu ku Muzigiti gwa MASJID Katwe Kinyolo (Gaaza). Oluvannyuma yafunyeemu akafubo n’obukulembeze bwomuzigiti wamu n’abakyala nebatandikawo SACCO ebayambe okwekulaakulanya. Yatonedde abakyala abasulirira okuzaala Mama kits. Bamubuulidde ebizibu byebayitamuvmu kitundu kyabwe okuli ebbula ly’emirimu, abaana okuva mu masomero, kasssiro asusse wamu nobukambwe […]
Bwosobya ate towaganyala buwaganyazi – Ssaabasumba Ssemogerere
Ssaabasumba Paul Ssemogerere: “Tusonyiwagane, teri atakola nsobi, ffena twonoona, ate bwetuba twonoonye tuleme kuwaganyala kusigala waggulu, tukakane tutegeere nti twakoze ensobi twekube mu mutima bwekiba kisoboka twetonde, ate naffe abalala bebakoze ensobi tubeere bakakamu tutambule mu bulamu obuggya, obulamu obuzuukivu.”
Sipiika wa Palamenti akulembeddemu Ababaka okugenda e Mengo
Sipiika wa Palamenti Anitah Among, omumyuuka we Thomas Tayebwa, Ssentebe w’Ababaka ba Palamenti abava mu Buganda Muwanga Kivumbi wamu n’Ababaka abalala batuuse e Bulange e Mengo gyebagenze okugula emijoozi gy’emisinde gyamazaalibwa ga Kabaka.
Poliisi ekutte eyabbye emmwaanyi e Mityana
Ttiimu ya Uganda Police Force eya K-9 e Mityana yayitiddwa oluvanyuma lw’omutuuze omu Kayima Madi omutuuze ku kyalo Kitaliza, Kamuseenene Parish mu Kiganda Sub-county okwekubira enduulu ku Poliisi y’e Kiganda nga bwewaliwo omuntu eyabbye emmwaanyi ze ku musiri. Poliisi yatutte embwa yaayo enkongalusu mu musiri webabbye emmwaanyi era bwetyo nebakulembera okubatwala olugendo nga lwa kiromita […]
Ssaabasajja akubirizza abantu be obutawubisibwa lwa byanfuna nabugagga
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aweereza abantu be obubaka bw’Amazuukira n’okubeebaza Okusiiba. Ssaabasajja ajjukizza abantu bulijjo okunywerera mu ebyo byebakiririzaamu baleme kuwubisibwa n’okwegaana bantu bannaabwe olw’ebyenfuna n’obugagga nga Petero bweyegaana Yezu ne Yuda bweyalya mu Yezu olukwe. Ssaabasajja awunzise akubiriza abantu okugula emijoozi n’okujja mu Lubiri nga 7 April okudduka olw’ekigendererwa eky’okukungaanya obuyambi […]
Hon. Malende awadde b’e Kabowa ebyokusiibulukuka
Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Shamim Malende olunaku olwaleero agabidde Abasiraamu ebyokusibulukukirako ku Muzigigiti gwa Kabowa Diniya. Abawadde enkota z’amatooke 70 ne kiro z’omuceere 200. Ono oluvannyuma asisinkanye Abakyala neboogerezeganya ku naonga ezenjawulo. Bano bamutegeezezza ku bizibu byebasanga mu kitundu kyabwe omuli ne kasasiro asusse.
Enkola y’ekibiina enaku zino yakuyita ku mutimbagano? – Hon. Mpuuga
Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayanukula ku kiwandiiko ekitambuzibwa nti kyawandiikiddwa Pulezidenti wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ngamuyimiriza; “Eri Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Kampala. Ku nsonga yokuyimirizibwa ku kifo ky’omumyuuka wa Pulezidenti. Ndabye ekiwandiiko ekitambuzibwa ku mikutu gya ‘social media’ nga kiraga nti ggwe wakitaddeko omukono mu […]
Hon. Mpuuga yandivuddeyo ng’omukulembeze ow’ekitiibwa – Hon. Karuhanga
Hon Gerlad Karuhanga; “Omusingi guba musingi. Ndowooza Mpuuga yakoze ensobi. Ndowooza yetaaga okukiriza nti yakoze ensobi akikirize nti yasobya era yetonde. Alina okussaamu okulekulira kwe nga kaminsona wa Palamenti, oluvannyuma asalewo okugenda okukiikirira abantu be. Yandivuddeyo ng’omukulembeze ow’ekitiibwa. Tukola ensobi ng’abantu, era okuzikiriza yemu ku ngeri eraga omukulembeze.”
Ramathan Ggoobi alina okutwetondera – Hon. Ssewungu
Omubaka akiikirira Kalungu West, Hon. Joseph Ssewungu Gonzaga aleese ekiteeso mu Palamenti ngayagala omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyensimbi, Ramathan Ggoobi alabikeko gyebali asobole okubeetondera ku byeyayogedde bweyategeezezza nti Palamenti terina buyinza butemaatema mbalirira ya Ggwanga.