Twejjusa okwongera omusolo ku diapers – Babaka ba Palamenti
Ababaka ba Palamenti bavuddeyo nebejjusa okuyisa enongosereza ku musolo ku diapers, nga baali balowooza zaali zikozesebwa okutumbula ebisiyaga mu Ggwanga kyali ki kyaamu. Bano bagamba nti omusolo guno ate gufudde diapers ezebbeeyi naddala eri Abakadde wamu n’abantu abaliko obulemu abazikozesa okukuuma ekitiibwa kyabwe mu bantu.
Anderson Burora ategeezezza nti agenda kulekulira
RCC wa Lubuga eyawummuzibwa Anderson Burora avuddeyo nasaba awummule emirimu mu butongole. Okusinziira ku Burora agamba nti okumuwummuza kuleeseewo embeera etali nnungi mu Offiisi ya Pulezidenti ne Gavumenti. Ategeezezza nti okusaba okumuwummula agezaako kwewala kwongera kwonoona kitiibwa kyabwe.
Nga lwaki musala ssente za Palamenti ebitundu 50 ku 100 – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among avuddeyo nawakanya ekiteeso kya Minisitule y’ebyensimbi ekyokusala embalirira ya Palamenti ebitundu 50 ku 100. Ababaka bavuddeyo nebagamba nti ekiteeso kino kibeera kiswaza Palamenti. Sipiika agamba nti kino kiba kitegeeza nti Ababaka tebajja kufuna musaala. Ono yewuunyizza lwaki bakiwandiise mu nnyukuta enkwafu nga balinga abagamba nti Palamenti terina kufuna ssente.
Sipiika wakukulemberamu Ababaka okugenda embuga okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among avuddeyo nalangirira nga Palamenti bwerina enteekateeka ngenaku zomwezi 2, April 2024 okukyalako embuga okuwaayo obubaka eri enteekateeka y’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egigenda okubeerayo nga 7 April 2024. Ssente ezinavaamu zakuyamba okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu Uganda.
Ebyavudde mu kugolola ebigezo ebyatuulibwa abasomesa ba P7 e Nakaseke bifulumye
Ebyakava mu kugolola ebigezo ebyaweebwa abasomesa ba Pulayimale mu Disitulikiti y’e Nakaseke biraga nga omusomesa eyasinze bweyafune 97% mu kubala ate eyakoze obubi yafunye 27% mu Science. Ssentebe wa LC5 Ignatius Koomu Kiwanuka, yabayanjulidde Olukiko lwa Council ya Disitulikiti olutudde era nategeeza nga bwebagenda okufulumya ebyavudde mu bigezo bino byonna oluvannyuma lwa Ppaasika. Koomu ategeezezza […]
PPS Omona awaddeyo offiisi mu butongole
Abadde Principal Private Secretary (PPS) wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga kati yalondeddwa ku bwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zamambuka ga Uganda Kenneth Omona Olusegun olunaku olwaleero awaddeyo offiisi eno butongole eri PPS, omuggya Asio Gloria Omaswa.
Bannakibiina kya NUP bakyadde e mbuga
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye akulira oludda oluvuganya Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi ne Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP, David Lewis Rubongoya, Omubaka Shamim Malende wamu n’Ababaka abalala abagenyiwaddeko Embuga okwetaba mu nteekateeka y’okugula emijoozi gy’emisinde gya Nnyinimu eginabaayo nga 7/04/2024.
Gavumenti eyagala Palamenti eyise ekiragiro ekisonyiwa abasuubuzi emisolo
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyensimbi Henry Musasizi, avuddeyo nasaba Palamenti ekirize okusonyiwa abasuubuzi omusolo oguwereza ddala obwesedde 13.313 nga zino zibangibwa abantu n’ebitongole ebyenjawulo okuli; Nkumba University, Makerere Business Institute, omusuubuzi Peter Lokwang, Donati Kananura n’abalala.
Katikkiro asisinkanye Bannakibiina kya NUP
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza Bannakibiina kya National Unity Platform nti Mmengo eyaniriza buli muntu awatali kwawula mu bibiina bya bufuzi, eddiini oba amawanga noolwekyo Kabaka yatwala buli muntu yenna ali mu Buganda era waddembe okwegazanyiza e Mmengo.