Abasiraamu babakubye emiggo e Kololo

Sipikka ebya NUP okugoba Mpuuga abigobye

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among avuddeyo nalemesa ekibiina kya National Unity Platform okuggyayo Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba ku kifo kya Parliamentary Commission, nga agamba nti ebbaluwa eywandiikiddwa ekibiina kya NUP yabadde terina kwebasinzidde oba tteeka mwebamugobera. Sipiika ategeezezza nti Omubaka yenna bwalondebwa ku kifo kya Commissioner, aba takyakolera Kibiina wabula abeera aweereza Palamenti yonna […]

Omubaka Malende aduukiridde abasuubuzi b’omukatale e Nakawa

Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende adduukiridde abasuubuzi b’omu katale e Nakawa n’eminwe gyamabaati 40. Bano bamunnyonyodde okusomoozebwa kwebayitamu naddala nga ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA kyebagamba nti kyagala kweddiza katale kaabwe. Bano era bagamba nti ssentebe waabwe Mudas Joseph yakwatibwa nga ali […]

Sirina buzibu na Pulezidenti wange – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Sirina buzibu bwonna ne Pulezidenti w’ekibiina kyange. Bwaba Pulezidenti ngalina ensonga yonna nange genda omubuuze. Sinamusisinkana, wabula mbadde muwulira ngayogera eri Bannamawulire ngagezaako okumatiza Eggwanga nga bwendi omuntu omuzibu naye Eggwanga ligaanye okukikiriza. Tetunasisinkana naye ndowooza mu naku ntono tujja kusisinkana bwanaaba akirizza. Sisobola kumuwaliriza kunsisinkana.”

Sirina gyendaga nkyali mu NUP – Hon. Mathias Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Njagala okutegeeza obukulembeze bwa National Unity Platform, bammemba wamu n’e Bannayuganda mwenna nti National Unity Platform kibiina kyange era sirina nteekateeka ekivaamu. Njagala okubategeeza nti tugenda kukwatira wamu n’e bakulembeze banange mu NUP okulaba nti tutereeza enkola yokukwatamu ensonga munda mu kibiina.”

Sirina buzibu bwonna na Pulezidenti wange – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Sirina buzibu bwonna ne Pulezidenti w’ekibiina kyange. Bwaba Pulezidenti ngalina ensonga yonna nange genda omubuuze. Sinamusisinkana, wabula mbadde muwulira ngayogera eri Bannamawulire ngagezaako okumatiza Eggwanga nga bwendi omuntu omuzibu naye Eggwanga ligaanye okukikiriza. Tetunasisinkana naye ndowooza mu naku ntono tujja kusisinkana bwanaaba akirizza. Sisobola kumuwaliriza kunsisinkana.”

Mukaseera kano tulina kulwana kukyuusa Ggwanga – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Njakugabana n’obukulembeze bwa National Unity Platform byendowooza nti Ekibiina kyange nange bwetusobola okweyambisa eri enkyuukakyuuka gyetuluubirira olwakadde akatono ketulina wamu nobwetaavu bwokwegatta okusoboola okuleetawo enkyuukakyuuka mu Ggwanga. Kati obwanga tulina kubwolekeza kulaba nti wabaawo enkyuukakyuuka mu mateeka g’ebyokulonda ne Ssemateeka okuyamba banaffe abali ebweru w’Eggwanga okwenyigira mu byokulonda okusinga okukyuusa ekigendererwa […]

Ababaka muli ba Kibiina si ba gundi, olwo bwetutalibaawo? – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Saagala Mubaka yenna mmemba wa National Unity Platform okubeera nti ono wa Mpuuga oba ono wa Kyagulanyi (Bobi Wine). Mukama akitutaase, singa omu kuffe afa? Ababaka baffe balina okukubirizibwa okutambulira ku misingi gyekintu. Ababaka baffe balina okuyimririra ku misingi gy’ekibiina.”

Amaanyi twandibadde tugateeka Mw. Museveni ayagala okutondawo obwakabaka – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Embeera nga bweri mu Ggwanga akaseera kano tukiraba nti Gen. Museveni atulaze mu lwatu nti agezaako kukola bwakabaka bwe. Bwotunuulira enkyuukakyuuka ezakoleddwa mu UPDF ezavuddemu okutuusa mutabani mu kifo ekisinga mu maggye g’Eggwanga. Ekyanaku ekibiina ekisinga obunene ku ludda oluvuganya mu Ggwanga kyesibye ku bintu ebitalina mitwe n’amagulu.”

Poliisi ekutte agambibwa okubba emu ku motoka ezakozesebwa mu NAM

Uganda Police Force yavuddeyo nekakasa okukwatibwa kwa Ddereeva wa Ministry of Health- Uganda, Mathias Tumusiime kubigambibwa nti yabba emu ku mmotoka ezaakozesebwa okutambuza abakungu abaali bazze kuno okwetaba mu lukungaana lwa NAM olwaliwo ku ntandikwa y’omwaka guno. Omwogezi wa Poliisi SCP Fred Enanga ategeezezza ebintu bingi ebyakozesebwa ebyabbibwa bangi ku bano bakwatiddwa era nebakunyizibwa.