LOP Ssenyonyi azizzaayo ssente ezenaku 4

Poliisi yetaaga obuwumbi obusoba mu 7 okugula ennamba eza digito

Under Secretary mu Uganda Police Force Aggrey Wunyi avuddeyo nategeeza Palamenti nga Poliisi bweyetaaga obuwumbi 7 n’obukadde 714 zibayambe okugula ennamba empya eza digito ezanateekebwa ku motoka za Poliisi. Wunyi ategeezezza nti buli motoka yetaaga emitwalo 75 okuwandiisibwa nga Poliisi erina emotoka 10,245 zerina okuwandiisa.

Burora ngenda kumugobera ddala kuba tawuliriza – Hajji Kakande Yunus

Omuwandiisi omukulu mu Office of the Presidnet Hajji Yunus Kakande avuddeyo nategeeza nti alina enteekateeka zokugobera ddala omumyuuka wa RCC owa Lubaga Burora Herbert Anderson nga entabwe eva ku byeyayogera ku buli bwenguzi n’okukozesa obubi offiisi ngalumba Sipiika Among ne Palamenti. Hajji Kakande agamba nti yayita Burora namuyimiriza ku mulimu naye kati agenda kumusindikamu Reward […]

UTB yetaaga obuwumbi 6 okuleeta Bannamawulire okutereeza ekifaananyi kya Uganda

Executive Director wa Uganda Tourism Board Lilly Ajarova avuddeyo nategeeza  Palamenti nga bwebetaaga obuwumbi 5 basobole okufuna emikutu gy’amawulire egy’Ensi yonna okusobola okutereeza ekifaananyi kya Uganda mu byobulambuzi oluvannyuma lwa UPDF okuvaayo netegeeza nga bwewaliwo abayeekera ba ADF abessozze Uganda nekigendererwa kyokuwoolera. UTB egamba nti abalambuzi batandise dda okusazzaamu ennambula zaabwe oluvannyuma lwokulangirira kuno. Ajarova […]

Abakozi ba Equity Bank 4 bavunaaniddwa okunyaga obuwumbi 6

Abakozi ba Equity Bank Uganda 4 basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti evunaana abalyake nebavunaanibwa omusango gwokugera bbanka nebaginyaga obuwumbi 6 mu obukadde 200 nga beyambisa unsecured loan zebakiriza nebaziwa abantu abatatuukiriza bisaanyizo. Bano kuliko; Musiime Julius – Head of Agency Banking, Erina Nabisubi – Relationship Manager, Ssemwogere Fred – Banker ne Tumuhimbise Cresent – […]

Poliisi etandise ebikwekweto okufuuza abo bonna abatalina ppamiti

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael, avuddeyo nategeeza nga bwebagenda okukola ekikwekweto wiiki eno yonna ku bavuzi b’ebidduka okuli emotoka ne piki piki abatalina ppamiti, abalina naye nga kkiraasi gyalina siya kidduka ekyo wamu nabo abalina ezaggwako. Ono ayongerako nti akawayiro 35 aka Traffic and Road Safety, amendment Act […]

Okufa kwange tukujja kulemesa ba Spire balala kuvaayo – Dr. Jimmy Spire Ssentongo

Dr. Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X; “Nkimanyiiko nti Palamenti ya Uganda munkukutu yasabye UCC ebikwata ku byempuliziganya yange era omulimu gwatandise okunoonya ani gwenjogera naye, biki byenjogera naye, ddi, wa, gyembeera, ddi lwensembayo okwogera nabo emisana n’ekiro n’ebirala. Muyinza n’okubaamu okwagala okuntuusaako obulabe. UCC, musobola okukiriza okukozesebwa mu […]

Muve kwabo aboogera olulimi lwa Ghetto – Rose Namayanja Nsereko

Omumyuuka wa Ssaabawandiisi wa National Resistance Movement – NRM Muky. Namayanja Rose Nsereko bweyabadde ayaogerako eri abawagizi ba NRM mu Nabweru South I Nansana Municipality; “Tulina okussa essira ku nsonga enkulu so ssi byabufuzi ebyokukyamukirira. Ebintundu ebirala bigenda kutuyisa mu nkulaakulana. Buganda yeyali ekulembera mu bintu bingi. Wewuunye akulira oludda oluvuganya omulamba noyimirira mu bantu […]

Poliisi eyongezza ku kirabo kyoyo anabatuusa ku Luggya Tabula

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga agamba nti Luggya Bbosa Tabula ebbanga lyamala nga yekukumye n’ekibi okwongera okumulumiriza wamu n’okuggwako emirembe. Ono agamba nti kino kyandimuviirako okwogera okuzza emisango emirala nga agezaako okudduka oba okwekweka. Enanga asaba oyo yenna ayinza okuba nga amanyi wa Tabula gyali okukubira aba Special Investigations Division ku Kitebe […]

Omusumba w’Abalakole eyasobya ku mwana namusiiga siriimu asibiddwa emyaka 40

Omusumba w’Abalokole Prophet Kimera Elijah James owa Faith Centre Church of All Nations e Lusanja mu Wakiso asindikiddwa mu kkomera amaleyo emyaka 40 lwakusobya ku mwana owemyaka 16 namusiiga akawuka akaleeta mukenenya. Kkooti ekitegeddeko nti Omusumba w’Abalokole ono omwana omuwala yamufunyisa olubuto nazaala balango, so ngera yali muganzi wa Maama we nga naye yegatta naye.