Omubaka Malende agabidde Abasiraamu ebyokusibulukukirako
Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya @National Unity Platfrom Hon. Shamim Malende olunaku olwaleero agabidde Abasiraamu ku Muzigiti e Kasubi ogwa Masjid Tawuhid ebintu ebyokusibulukuka. Abakyala abasulurrira okuzaala abawadde Mama Kits.
Kitalo! Omuyizi omu afudde abalala babuuse na bisago
Abayizi abasoba mu 100 ab’essomero lya Kasoolo St Paul SS ababadde bagenda okuzannya omupiira bagudde ku kabenje oluvanyuma lw’ekimotoka ekika kya Fuso ekitategeerekese nnamba okulemererwa omugoba waayo neggwa ku kyalo Kasoolo mu Gombolola y’e Nkandwa mu Disitulikiti y’e Kyankwanzi.
LOP Ssenyonyi weebale, e Lubowa bazzeemu okuzimba – Sipiika Among
Sipiika wa Palementi Anitah Among yavuddeyo nalangirira ng’okuzimba eddwaliro ly’e Lubowa bwekwazzeemu oluvannyuma lw’emyaka 2, era neyebaza nnyo akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi olwokuteekawo akazito.
Sijja kuvvunnamira balyake – Anderson Burora
Abadde RCC wa Lubaga Burora Herbert Anderson eyawumuziddwa okumala akabanga; “Okuwumuzibwa kwange kwavudde ku kunenya Sipiika engeri gyasaasanyamu ensimbi n’entambuza y’emirimu gya Palamenti. Oddira otya Leediyo ey’ekyalo nogiwa obuwumbi bw’ensimbi naye nga UBC, TV y’Eggwanga etubidde mu buzibu bwa ssente? Lwakiri nfiirwa omulimu naye nga sivvunamidde bali banguzi mu Ggwanga obuli bw’enguzi gyebufuuse ekyabulijjo.”
NEC eronze Hon. Zaake okusirikira Hon. Mpuuga
Akola nga Pulezidenti wa National Unity Platform Dr. Lina Zedriga Waru avuddeyo nafulumya ekiwandiiko oluvannyuma lwa NEC okutuula ku nsonga zeyali LOP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ku bigambibwa nti yenyigira mu bikolwa byokulya enguzi wamu n’okukozesa obubi offiisi ye ngali wamu ne Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abali ku Parliamentary Commissioners mwebegabirira akawumbi […]
Abakolera abasiyazi tebajja kuntiisatiisa – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nategeeza nti ebigambibwa nti akozesa bubi offiisi ye wamu n’obuli bwenguzi mu Palamenti nategeeza nti ye talina budde kwanukula ngambo zapangiddwa ku ye olwokuba yakiriza okuyisa etteeka lyokulya ebisiyaga. Ono ayongeddeko nti tajja kwanukula bintu bya ŋŋambo nabintu biyiyiziddwa ku social media. Ono akinogaanyizza nti ye awakanyiza ddala ekyokuvuga […]
Pressure aziddwayo ku alimanda e Luzira
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi agaanye okusaba kwa Musana Ibrahim aka Pressure 247 okwokweyimirirwa nga agamba nti talina kifo kituufu wabeera nga nabwekityo tasobola kumuyimbula kuba tebalina gyebanamunoonyeza singa abulawo. Omulamuzi ategeezezza nti Pressure yagamba Poliisi nga bwabeera e Kawuga mu Disitulikiti y’e Mukono nti wabula mu Kkooti baleese ebbaluwa nga ewandiikiddwa […]
Abakirizza balemesezza Archbishop Kazimba okuyingira ekkanisa e Kumi
Waliwo ekiwayi kyabakirizza mu Disitulikiti y’e Kumi abagaanyi Archbishop Stephen Kazimba Mugalu okuyingira ekkanisa ya St. James Atutur. Obuzibu bwatandise Bishop Mike Esakan bweyategeezezza nti y’essaawa Essaza ly’e Kumi lyeddize ekkanisa eno ebadde yawambibwa ennumba. Kino kyanyizizza abakiririza mu kiwayi kya Reformed Anglican Church ababadde babagalidde amafumu n’amajambiya abatandise okuwerekereza musajja wa Katonda ebigambo nga […]
Pressure 247 n’abamamweyimirira beyaleeta tebalina watuufu webabeera
Ibrahim Musana aka Pressure 247 akomezeddwawo mu Kkooti olunaku olwaleera wabula okusinziira ku alipoota yomuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka eraga nti abantu 2 beyaleeta okumweyimirira ne Musana yennyini tebirina bifo byankalakkalira webabeera. Ono agamba nti nokumuyimbula kyabulabe nnyo olwabantu beyavuma abomugaso ennyo nga okumukuumira mu kkomera kimutaasa. Ono ayongeddeko nti Kkooti bweba esazeewo kumuyimbira lwakiri […]