Poliisi etabuse ku kalango ka Jesa Jus
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga obukulembeze bwa Poliisi bwebuvumirira ne ssekuvumirira akalango ka ‘JESA JUS’ akakoleddwa nekateekebwamu omusirikale w’ebidduka by’okunguudo nga kalaga nti yabadde akola emirimu gye egyabulijjo ku luguudo nayimiriza emotoka okugyekebejja. Ddereeva w’emotoka n’abaana beyabadde atisse yabasabye ku kyokunywa kya ‘JESA JUS’ era nabaleka bagende ebyokwekebejja emotoka […]
Abgambibwa okutta Lwomwa omubuze basindikiddwa e Luzira
Abantu 5 okuli n’omuwandiisi mu Kkooti ya Kisekwa Milly Naluwenda basindikiddwa ku alimanda e Luzira ku misango egyekuusa ku kutta eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa omubuze Eng. Daniel Kakendo Bbosa nga 25-Febuary. Omu ku bagambibwa okutta Lwomwa, ye Luggya Daniel ngono yasimattuka okuttibwa abatuuze ababagoba nebabakwata abadde ajjanjabwa mu Ddwaliro e Mulago gyasiibuddwa olwaleero okuleetebwa […]
Abaaliko ba RDC balaajanidde Pulezidenti Museveni
Abaliko ba RDC abasoba mu 30 nga ku bano kuliko ny Eric Sakwa bavuddeyo nebalajanira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo okubataasa kuba embeera gyebayitamu sinyangu nga bagamba nti okusuulibwa kwabwe kwali kwakibwatukira nga tebalina kebetegekedde nga kati basanga obuzibu bwamaanyi okweyimirizaawo naddala mu byensimbi nti era ne mu bitundu gyebabeera tebakyawera. Bano baagala Pulezidenti abafunireyo […]
NAGRC ewakanyizza ekyokuliyirira Minista Otafiire obuwumbi 76
National Genetic and Resources Centre and Data Bank – NAGRC&DB ewandiikidde Ssaabawolereza wa Gavumenti ngemulabula ku kyokuliyirira Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire obuwumbi 76 ku ttaka lya Njeru Stock Farm lyakayanira nti lirye. Minisita Otafiire agamba nti ettaka lino yaligula Christopher Lule, era nga Minisita yagenda ku ffaamu eno nga […]
Mujjumbire okutwala abaana mukwabya ennyimbe – Katikkiro wa Nakinsige
Ssaalongo Noah Ssekirembe Kigongo, Katikkiro wa Nakinsige, asomesezza ku musomo gwokwabya olumbe. ▪︎Agamba nti abasiba ekifundikwa nga kya nkonokono, kireeta ebizibu mu Kika. ▪︎Omusika omukyala bamusumikira mu Nnyumba, akwasibwa ekibbo, endeku, n’akambe akaddugavu. ▪︎Saalongo tebamwambaza kifundikwa, wabula bakimukwasa mu ngalo.
Abakyala mukole nnyo emirimu egibayamba okwekulaakulanya – Hon. Malende
Olunaku olwaleero Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kampala Hon. Shamim Malende yetabye ku mukolo ogutegekeddwa ekibiina ekimanyiddwa nga Catholic Workers Movement ng’omukolo gubadde Mbuya mu Division. Ono akubirizza abakyala okukola ennyo okulaba nti bekulaakulanya nga bayita mu mirimu egyenjawulo, ono awagidde pulojeketi yaabwe eyebintu ebyemikono nasuubiza okubasakira.
Bannayuganda batuufu okutunyiigira – Hon. Ssemujju
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda; “Bannayuganda batuufu okutunyiigira, wabula ekirina okukolebwa si kugoba Among. Mu Palamenti Ababaka gyebekobaana okugabana obuwumbi 170 ezaali ez’ebibiina byobweggassi ebyaggalwa ate ekibinja ekirala nekigabana amabaati agali agabantu abayinike e Karamoja, ekirabo ky’obuweereza kitandika okulabika ngekyabulijjo. Ye nsonga lwaki ekirina okukolebwa kwekuggya Mw. Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza ate […]
Owa NUP awangudde obwa Guild President e Makerere
Munnakibiina kya National Unity Platform Lubega Vincent Nsamba alangiriddwa nga Guild President owe 90 owa Makerere University oluvannyuma lwokufuna obululu 2,540 mu kulonda okukoleddwa ku mutimbagano bwatyo namegga banne 15 babadde avuganya nabo. Ono adidirddwa Edmond Ariho, gwasinze obululu 4. Kasekende Fulungensio, afunye obululu 1,674 ate Simon Wandukwa akutte kyakuna n’obululu 1,039.
Sipiika asinga abazibba nebatabaako kyebakolera bantu baabwe – Chris Obore
Chris Obore nga ye Director, Communication & Public Affairs owa Palamenti avuddeyo ku nsimbi y’omuwi w’omusolo abantu gyebanenya Sipiika Anitah Among gwebagamba nti azikozesa bubi; “Ekibuuzo kirina kubeera nti ssente zino zaali zaaki era zasaasanyizibwa zitya. Okusinga okulumba omuntu tubeere benkanya. Saagala kunenya Sipiika Anitah Among olwokuba akoledde abantu be mu kitundu kye naye nga […]