Ekitongole kya Keddi Foundation kiduukiridde abantu ababundabunda

Poliisi ekutte abadde abba nnamba z’emotoka

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Oweyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte Muwanguzi Isaac 21, nga mutuuze w’e Salaama ku bigambibwa nti abadde abba ennamba z’emotoka. Isaac yakwatiddwa olunaku lw’eggulo e Kabowa oluvannyuma lwokumunoonyeza ebbanga. Okunoonyereza kulaga nti Isaac abadde abba ennamba z’emotoka nebyuuma ebirala ku motoka mu bitundu by’e […]

Omukulu w’essomero akwatiddwa lwakujingirira ebyava mu bigezo bya P.7

Lillian Ayebazibwe, ngono mukulu wa Ssomero lya Bubaale Primary School e Bushenyi akwasiddwa Uganda Police Force ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Ggwanga ekya Uganda National Examinations Board-UNEB ku bigambibwa nti yagingiridde ebyava mu bigezo bya P.7 nebatuuka n’okuweebwa ebifo mu S.1 mu masomero agenjanwulo so nga ebigezo by’abayizi bano 114 byakwatibwa ku nsonga ezekuusa ku […]

LOP n’Ababaka ba Opposition bagaaniddwa okuyingira e Lubowa

Ababaka ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu LOP Joel Ssenyonyi bagaaniddwa okuyinga mu kifo awazimbibwa eddwaliro lya Lubowa Specialized Hospital olunaku olwaleero nga wakayita emyezi 3 gyokka nga Palamenti eyisizza ssente obuwumbi 2 mu obukadde 700 nga zino zakulondoola mirimu egikolebwa mu kuzimba eddwaliro lino ezasabwa Ministry of Health- Uganda. LOP Joel […]

Abasse omutaka Lwomwa babadde 3 – SCP Fred Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nakakasa nti abantu 3 bebenyigidde mu kuttemula omukulu w’ekika ky’Endiga Lwomwa Eng. Daniel Bbosa. Bano kuliko; Enock Sserunkuma, ono nga yatiddwa abatuuze ababakutte ne Noah Lujja ngono ali mu Ddwaliro e Mulago gyafunira obujanjabi olwebisago bweyafunye ng’abantu babakutte ate ye owookusatu kigambibwa nti yemuludde nadduka. Poliisi […]

Pulezidenti Museveni awadde Bugema University obukadde 20

Omumyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Rtd. Maj. Jessica Alupo olunaku olwaleero akiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku mukolo gwokusonderako ensimbi z’okumaliriza ekizimbe kyokusomesezaamu ssaayansi ku Bugema University. Pulezidenti Museveni awaddeyo obukadde 20 ziyambeko mu mulimu guno.

Drone gyebabatiza ennamba nga tesasude musolo ekwatiddwa URA

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kyakutte emotoka Toyota Hiace Drone eyagibbwa mu Ggwanga lya South Sudan neyingizibwa mu Ggwanga oluvannyuma nannyiniyo nagiteekako ennamba y’emotoka endala ekika kya Drone nga tagisasulidde musolo. Ono teyakoma kugibatiza nnamba wabula yagiteekamu n’ekikuubo kya blue ekya takisi olwo netandika okusaabaza abantu ku luguudo […]

Ow’ekitiibwa omulamuzi nze ndi mulalu – Pressure 247 (Musana Ibrahim)

Musana Ibrahim aka Pressure 247 eyali yegumbulidde okuvuma Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Tiktok asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi owa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa emisango okuli okuvvoola nokwogera obubaka obwobukyaayi ku Kabaka wa Buganda ne Pulezidenti Museveni. Wabula Musana ategeezezza omulamuzi nti ye byeyakola mu butambi […]

Ab’amaggye 22 abakuzibwa gyebuvuddeko bambaziddwa ennyota zaabwe

Bannamaggye 22 abakuzibwa nga 30-January-2024 olunaku olwaleero bambaziddwa enyota zaabwe mu butongole ku mukolo ogubadde ku kitebe ky’amaggye ga UPDF e Mbuya nga gukulembeddwamu CDF Gen. Wilson Mbasu Mbadi. Abakuziddwa kuliko ne Director ISO Colonel Charles Oluka eyakuziddwa okutuuka ku ddaala lya Brigadier. Bya Kamali James

Omuliro gukutte ekisulo ky’essomero e Lukaya

Nabbambula w’omuliro atanategeerekeka kwavudde akutte ekisulo ky’abayizi abawala ku ssomero lya God Cares Christian Primary School erisangibwa e Kirinnya mu Lukaya Town Council mu Disitulikiti y’e Kalungu mu kiro ekikeesezza olwaleero era ebintu by’abayizi byonna nebisaanawo. Mpaawo muyizi agiiridde mu muliro guno. Ye omwogezi wa Poliisi ow’ettunduttundu ly’e Masaka Kasirye Twaha ategeezezza nti Uganda Police […]