Obubenje bweyongera mu 2023 – Uganda Police

Bannakibiina kya NUP 2 bagiddwako emisango

Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende era Munnamateeka wa National Unity Platform ategeezezza nti olwaleero Kkooti y’e Nabweru essudde emisango gyobutujju gyebadde evunaana Bannakibiina kya NUP okuli Masaba Faridah ne Resty Birungi. Wabula ate ku 9 okusigaddewo okuli Magala Umar nabalala 9 eyongeddeko abalala 2 okuli; Ssekabembe Rashid ne Ssebaggala Rashid.

Sipiika asisinkanye LOP Ssenyonyi

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Among akyaddeko mu offiisi yakulira Oludda Oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi okukubaganya ebirowoozo ku bigenda okuteesebwako mu lutuula lwa Palamenti olwaleero. Ensonga enkulu eri ku mmeeza yeyokugatta ebitongole bya Gavumenti ebimu.

Katikkiro atandise okulambula abalimi b’emmwanyi e Buweekula

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Ntandise okulambula abalimi b’Emmwanyi, era nsookedde wa mulimi Kayengere John ku kyalo Kyetume mu Ggombolola ya Ssaabagabo Kasambya era ono alina yiika 26 ezemmwanyi. Omukulembeze omutuufu atuuka ku bantu, tatuula mu woofiisi mwokka, era nsaba abakulembeze babeere eky’okulabirako eri abantu be bakulembera nga bakola ebyo byebaagala abantu bakole.”

Owa Military asse muganzi we

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omusirikale wa Military Police Corporal Andebo Collins avudde mu mbeera n’asindiirira muganzi we Aturinda Peroni amasasi bwamusanze ngalinnya booda booda. Oluvannyuma me Andebo yekubye amasasi. Kitegeerekese nti abaagalana bano bamaze ebbanga lya myaka nga 5 nga balina obutakkaanya era […]

Gravity eyawemulira mu luyimba lwa Taata tolina kwogera – Kafeero Swars

Luno lunaggwa!? Mutabani w’omugenzi Paul Job Kafeero avuddeyo nategeeza nti GRAVITTY OMUTUJJU yaddamu oluyimba lwa kitaabwe olwa Walumbe Zzaaya olwamufuula kyali wabula teyabawa yadde ekikumi nti era teyakoma kwekyo wabula nawemulira ne mu luyimba lwa kitaabwe ebitagambika naye bamuleka kuba balaba nga naye anoonya kuyitawo. Bano bongerako nti Bobi Wine yabanoonya bweyali addamu oluyimba lwa […]

Ntwala obudde bungi okulowooleza Uganda – Hon. Byanyima

Omubaka wa Bukanga North mu Disitulikiti y’e Isingiro Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Nathan Byanyima agamba nti Ababaka abalala bwebaba bebaka essaawa 6 ekiro ye yebaka 3 essaawa endala 3 azimala alowooleza Uganda.

Katikkiro asanyukidde ekyokukwata omuvubuka abadde avuma Kabaka

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nneebaza Minisita wa Kabaka ow’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Kazibwe Israel olw’ebigambo bino: Omuntu yenna eyepampalika ku Nnamulondo (ng’omuvubuka ono, Ibrahim Musana) abadde avvoola Kabaka n’Obwakabaka, tuggya kweyambisa woofiisi ya Ssaabawolereza okumukwata n’okumusimba mu kkooti, asibwe.”

Bannamawulire ababagobedde ebweru ku Kkooti y’amaggye e Makindye

Bannamawulire ababadde bagenze okusaka amawulire ku Kkooti y’amaggye etudde e Makindye ngewulira okusaba kwa Bannakibiina kya National Unity Platform 28 okwokweyimirirwa babafulumizza wabweru wa ggeeti enkya yaleero. Kkooti ngekubirizibwa Brig. Gen. Freeman Mugabe tewadde nsonga lwaki bano ebafulumizza. Kinajjukirwa nti bano bakwatibwa mu December 2020 mu kunoonya akalulu k’obwa Pulezidenti nga babadde ku alimanda ku […]

Musana Ibrahim abadde yegumbulidde okuvuma Kabaka akwatiddwa

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwebakutte Musana Ibrahim eyeyita Pressure 24.7 ku Tiktok ngabadde yegumbulidde okuvuma abantu okuli ne Ssaabasajja Kabaka, nokukuuma omuliro mu bantu.