FUFA etongozza omupiira omutongole ‘Zakayo’
Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) olunaku lw’eggulo kyatongozza omupiira ogunasambibwa mu mpaka zonna ez’omupiira eziri wansi waakyo ngomupiira guno gwatuumiddwa Zakayo okujjukira ezike erigambibwa okuba nga lyeryali lisinga obukulu mu Uganda eryali limanyiddwa nga Zakayo eryafa mu 2018. #itallstartswithaball
Kitalo! Omukulu w’essomero afiiridde mu kabenje ngajja e Kampala okukima ebyavudde mu bigezo
Kitalo! Omukulu w’essomoro lya Awara College Etori mu Kibuga Arua afiiridde mu kabenje bwabadde ajja e Kampala okukima ebyavudde mu bigezo by’abayizi ba S.4 era ng’abayizi 7 babadde bayitidde mu ddaala erisooka. Ms Lillian Letaru (ayimiridde) yafiiridde mu kabenje akagudde wakati wa Kafu–Kigumba ku luguudo lwa Arua – Gulu ku ssaawa emu eyookumakya motoka mweyabadde […]
Abawagizi ba NUP bangi abakyali mu makomera – David Lewis Rubongoya
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya; “Nga tuvuddeko katono ku ky’abawagizi ba NUP abavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye, waliwo abawagizi abalala abavunaanibwa emisango egyekuusa ku byobufuzi mu Kkooti. Abamu ku bano babadde ku alimanda okumala ebbanga erissukka mu mwaka ate abalala ebbanga eriweza omwaka naye tebavunaanibwanga! Bonna bazooka kuggalirwa okumala ebbanga nga babatulugunya bwebaali […]
Kitalo! Abantu 3 bagudde mu nnyanja Nalubaale nebafiirawo
Kitalo! Abantu 3 okuli; Nnaalongo Achieng, Kabenge ne Kali Smart bafiiridde mu nnyanja Nalubaale ekinaala kwebabadde basaabalira nga kuno babadde batisseeko n’ente bwekyedimye mu nnyanja, ente n’abantu nebafiirawo. Enjege eno eguddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero ku mwalo gw’e Malongo mu bizinga by’e Buvuma. Akabenje kano okuggwayo kigambibwa nti ente zitabukidde ku mazzi neziyuuya ekinaala okukkakana […]
Kitalo! Abantu 3 bafudde oluvannyuma lwokulya emmere egambibwa okubaamu obutwa mu kuziika
Kitalo! Abantu 3 bebakakasiddwa okuba nga baafudde oluvannyuma lw’okulya emmere egambibwa okubaamu obutwa mukuziika ate abalala abali eyo mu 80 nebaddusibwa mu ddwaliro lya Buwenge General Hospital nga tasiibewo tasulewo yali ku mumwa. Bino byagudde mu Ggombolola ye Buyengo mu Disitulikiti y’e Jinja era Omubaka wa Pulezidenti mu kitundu, Gulume Balyaimo yaweerezza emmotoka agafemulago okutwala […]
Bannayuganda nga baava Rwanda bakuweebwa ennangamuntu – Minisita Muhoozi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi yategeezezza nga Bannayuganda wabula ngobuvo bwabwe bwa Ggwanga lye Rwanda nga bwebagenda nabo okuweebwa ennangamuntu kuba Ssemateeka wa 1995 aboogerako. Yayongeddeko nti Abakyala Abasiraamu bakukirizibwa okukubwa obufaananyi n’obutambaala ku mutwe wabula nga bagoberera enkola ezateekebwawo ez’Ensi yonna.
Omubaka Kiyaga alemeddwa okukolera abantu be abayimbira buyimbizi – Hon. Amelia Kyambadde
Eyaliko Minisita w’ebyosuubuzi era omubaka wa Mawokota North Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hon. @Amelia Ann Kyambadde agamba nti eyamuddira mu bigere Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Hilary Kiyaga aka Dr Hilderman yali akyali muto mu byobufuzi kuba asuuliridde nnyo ekyokukiikirira abantu be nga essira alitadde nnyo ku kisaawe kyokuyimba ne katemba […]
Ebigezo bya Siniya eyookuna bifulumizibwa nkya
Minisita w’Ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni avuddeyo nakakasa nti wakufulumya ebyava mu bigezo bya Siniya eyookuna ebyatuulibwa omwaka 2023. Bino byogeddwa oluvannyuma lw’abakungu okuva mu Uganda National Examinations Board-UNEB okwamwanjulira ebyava mu bigezo enkya yaleero. Abayizi 349,459 bebewandiisa bwobageraagerageranya naabo abawendiisa mu 2022 abaali 364,467. Abayizi ba 2023 bebasembyeyo okutuula ebigezo ebikwatagana nensomesa enkadde ebaddewo.
Munnamateeka Lukwago avudde mu Kakiiko ka Palamenti lwa Mubaka kugaana kwanukula bibuuzo bye
Munnamateeka Erias Lukwago olunaku olwaleero aleseewo omuntu we gwawolereza MP Zaake Francis Butebi mu Kakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa oluvannyuma lw’Omubaka Kinyamatama okugaana okwanukula ebibuuzo byamubuuzizza. Zaake asabye akakiiko kamuweeyo wiiki 2 afune Munnamateeka omulala.