Kibedi Cox asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi asindise blogger Kibedi Ronald Cox 48, ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa ku lwokutaano lwa wiiki eno lwokukola vidiyo ngavuma Maama ko ne muwala we. Ono avunaaniddwa emisango okuli Cyber Harassment wamu n’okutyoboola ekitiibwa ky’omukyala. Kigambibwa nti okuva omwaka gwa 2021 okutuusa nga 18-January-2024 Kibedi lweyakwatiddwa, […]
Nyabagole wa Rwenzururu akyalidde ku Basaakaate
Nyabaghole wa Rwenzururu (Omukyala w’Omusinga) Agnes Ithugu Asimawe naye olunaku olwaleero akyaliddeko Abasaakaate abali mukutendekebwa ku ssomero lya Homisdallen School e Gayaza mu Disitulikiti y’e Wakiso. Nyabaghole ayaniriziddwa Dr. Nassali Maria ku lwa Maama Nnaabagereka wa Buganda era abuuliridde Abasakaate ku ngeri omuntu gyalina okweyisaamu nga yogerako eri abantu.
Ebyentambula ku luguudo lwa Northern Bypass bigenda kutaataganyizibwa – Poliisi
Poliisi y’ebidduka evuddeyo netegeeza nga bwewagenda okubeerawo okutaataganya mu ntambula y’ebidduka nga Uganda yeteekerateekera okukyaaza abakulembeze abagenda okwetaba mu lukungaana lwa NAM n’olwa G77 + China ku luguudo Northern Bypass ne Kampala – Entebbe Expressway. Poliisi egamba nti emotoka tezijja kukirizibwa kusukka Flyover ye Busega kweyongerayo ku luguudo lwa Entebe Expresswat. Ku Northern Bypass ku […]
Twandiremererwa okutandika okusoma okwobwereere – Minisita Muyingo
Minisitule y’Ebyenjigiriza n’ebyemizannyo evuddeyo netegeeza nti erina obweralikirivu nti yandiremererwa okuteekesa mu nkola ekiteeso ekyayisibwa olukiiko lwa Baminisita ekyokusoma okwobuwaze eri buli mwana ate nga kwabwereere ku mutendera gwa Pulayimale ne Ssekendule oluvannyuma lwokusaba ensimbi obuwumbi 309.162 zebasaba obutateekebwa mu mbalirira y’ebyensimbi eyomwaka 2024/25 Olukiiko lwa Baminisita lwayisa ekiteeso kyokutandika okusoma okwobwereere okwa Pulayimale mu […]
Poliisi ekutte Namwandu n’abaana bagiyambeko mukunoonyereza kwokuttibwa kwa Dr. Abiriga
Uganda Police Force e Masindi ekutte abantu 4 okuli omukyala w’omugenzi, omukozi w’awaka n’abaana b’abadde akola ng’akulira eby’obulamu mu Disitulikiti ye Masindi, Dr. Gino Abiriga eyatemuddwa olunaku lw’eggulo bagiyambeko mu kunoonyereza ku nfa ye. Okusinziira ku kunoonyereza okwakakolebwa, kiteeberezebwa nti okutemulwa kwa Dr. Abiriga kwandiba nga kwavudde ku nkayana za bya bugagga.
Mwebale kusabira mukyala wange – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nayozayoza Bannayuganda olwokumalako omwaka 2023 nabagaliza omwaka 2024 omulungi, era ono yategeezezza Eggwanga nga bwalina amawulire amalungi nti Mukyala we Janet Kataaha Museveni eyali akwatiddwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe owa Covid19 bweyassuuse eyamukwata ku Ssekukkulu era neyebaza Bannayuganda okumusabira.
Bobi Wine emisa ya ssekukkulu agikwatidde Gayaaza
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Nze ne famire yange nga tuli wamu ne Hon. Joel Ssenyonyi, Hon. Nkunyingi Muwada wamu n’abakulembeze abalala emisa ya Ssekukkulu tugikwatidde ku Our Lady of good counsel Cathedral e Gayaza. Neebaza nnyo Fr. Makanga, Parish Priest, olwokutwaniriza obulungi ssaako nokwogerako kukunyigirza okuliwo mu Ggwanga.”
Ekya Sobbi kibeere ekyokuyiga eri buli omu – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; ” Tosobola kutoloka kuva mu Sobibor, bweyagamba nga afuluma ekibanda kya firimu mu Ghetto mu Kisenyi mu myaka gya 1990 eyo. Firimu eyali eriko ebisera ebyo baali bagiyita ‘Escape from Sobibor,’ emboozi eyali ekwata ku nkambi eyitibwa Sobibor eyali mu Nazi Germany […]
Pulezidenti Museveni asuubizza okuzimbira Omusinga olubiri
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agenda kuzimbira Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere olubiri olupya oluvannyuma lw’olubiri lwe okwonoonebwa mu bulumbaganyi obwakolebwa ku Lubiri lw’Omusinga mu mwaka gwa 2016. Omwandiisi ow’ekyama ow’Omusinga, David Bradford Nguru ategeezezza nti Pulezidenti yasuubiza n’okugulira omusinga wooteeri gaggadde, tulakita 3, emmotoka za buyonjo n’ebintu ebirala bino biyambeko ku Businga okufunamu ensimbi. […]