Abasirikale ba UPDF abalabikidde mu katambi nga bakuba omuntu basindikiddwa mu kkomera

Mutuwe abantu baffe – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Tukyabanja abantu baffe abaabuzibwawo era tetujja kulekeraawo, nebaza Owek. Mathias Mpuuga Nsamba olw’okulemera ku nsonga eno. Tubanja abantu baffe oba balamu oba bafu. Nebwebaba baabaggyamu amaaso nga Omubaka Ssegona bweyatugambye nti alina obukakafu nti waliwo bebaagagyamu mubatuwe tubaagala.”

Sipiika asisinkanye LOP ne Wangadya

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among asisinkanye akulira akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC, Mariam Wangadya mu maaso g’akulira oludda oluwabula Gavumenti, Hon Mathias Mpuuga Nsamba, Commissioner Hon. Solomon Silwany ne Hon. Abed Bwanika okulaba engeri gyebasobola okusisinkanamu abakulu mu Minisitule n’ebitongole ebikwatibwako ensonga z’ebyokwerinda ku nsonga z’abantu abagambibwa okubuzibwawo […]

Bobi Wine ayambalidde Wangadya owa UHRC

Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ayanukudde Ssentebe w’akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC, Mariam Wangadya ku bigambo byeyayogedde olunaku lw’eggulo mu lukungaana lwa Bannamawulire. Wangadya yalabudde ekibiina kya NUP okukomya okubabanja abantu baabwe kubanga bbo ng’ekitongole tebalina muntu n’omu gwebaali […]

UNRA etandise okudaabiriza oluguudo olwabotose e Busega

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA kigenda mu maaso n’okuddaabiriza ekitundu ky’oluguudo ekyayonoonese ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka okumpi n’ettaawo lye Busega. Omu ku bali ku mulimu guno, Eng. Kenneth Muniina ategeezezza nti bagenda kuzuula ekituufu ekyaviiriddeko oluguudo luno okwonooneka kibasobozese okulukola obulungi n’okukitangira okuddamu […]

Byenabawa byebyenkomeredde temusuubirayo birala – Gen. Muhoozi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi bw’abadde ayanukula okuddamu okukoleddwa akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ku alipoota ekwata ku kiwamba bantu gyeyayanjulira Palamenti gyebuvuddeko, asabye oyo yenna awulira nga si mumativu ne alipoota gyeyayanjula yeyambise amakubo amalala kuba alipoota gyeyawa yeyenkomeredde.

Tukyanoonyereza ku motoka ya Poliisi 17 eyatomera abantu – Minisita Muhoozi

Minisita Gen. David Muhoozi avuddeyo nategeeza Palamenti nga Gavumenti bwekyanoonyereza ku kuwandiisibwa kw’emotoka ya Uganda Police Force 17 eyakwatibwa ku katambi ngetomera abantu nebatta mu kwekalakaasa okwaliwo mu November 2020 mu Kampala.

Poliisi ezudde emotoka 10 ezibadde zabbibwa

SCP Namutebi Hadijaha avuddeyo nategeeza nga ttiimu yabasirikale ba Uganda Police Force okuva mu Flying Squad bwebakola ekikwekweto nga 26 October, 2023, mu Kampala n’emiriraano nekigendererwa ekyokukwata ababbi b’emotoka mwebakwatira Kisuule Juma okubayambako mu kunoonyereza. Bweyabuuzibwa ono yalonkoma banne bwebabba wamu n’okutunda emotoka era banne bano nebakwatibwa nga basangibwa Wobulenzi mu Disitulikiti y’e Luwero nga […]

Mulekerawo okuweebula ekitiibwa kya ssente ya Uganda – BOU

Bbanka enkulu eya Uganda erabudde abantu abagufudde omusono okukola ebimuli mu ssente netegeeza nti kino kiwewula ekitiibwa kye ssente z’eggwanga era esabye bannayuganda okukikomya mbagirawo. Okusinziira ku bakulu mu Bbanka eno ssente zino bweziba zisibwamu ebimuli z’onooneka olw’ebyo byebakozesa okuzigattagatta ekizimalamu omuwendo nga kikaluubiriza n’ebyuma ebizibala ng’ebya ATM okuzibala.

Lwaki temubebuuzaako nga tebanafa? – Hon. Ogwal

Omubaka omukyala akiikirira Disitukiliki ye Dokolo, Cecilia Ogwal agugumbudde Ababaka abagambye nti bejjusa obuteebuuza ku Owek. Joyce Mpanga ku butya bwebasaana okuddukanya Eggwanga n’ababuuza ekyabagana okumunoonya mu kiseera wabeeredde omulamu. Ono asabye ababaka okuzuukuka bakoseze abantu n’ebintu ebibetoolodde ng’obudde bukyaliwo. Bino aby’ogeredde mu lutuula olw’enjawulo Palamenti lweyataddewo okusiibula n’okusiima Owek. Joyce Mpanga olw’emirimu gyakoledde Eggwanga.