Abasenguddwa ku ttaka baddukidde mu UHRC

Omukolo gwokugatta Kyabazinga ne Inebantu gutandika ssaawa ttaano ezookumakya – Katuukiro

Katuukiro wa Busoga Dr.Joseph Muvawala alangiridde nti omukolo gw’okugatta Kyabazinga William Gabula Nadiope IV ne Inebantu Mutesi Jovia ku lutikko e Bugembe gugenda kumala essaawa bbiri zokka olwo boolekere Olubiri Kyabazinga wagenda okusembereza abagenyi be. Okusinziira ku Katuukiro, omukolo guno gwakutandika ku ssaawa ttano zennyini era asabye abaagala okubaawo nga abajulizi mu kugatta abagole kuno […]

Ababaka ba Opposition betemyeemu ku kyentuula

Waliwo Ababaka abamu ku ludda oluvuganya Gavumenti abavuddeyo nebategeeza nti bejjusa okugaana okugenda mu ntuula za Palamenti nga bagamba nti ekyobutabaawo mu Palamenti kyawadde Gavumenti omukisa okuyiza ebbago lya Petroleum Supply Amendment Bill, eryawadde Uganda National Oil Company Limited ebbeetu okuleeta amafuta mu Ggwanga nga bagamba nti kino kiyinza okuleetera emiwendo gy’amafuta okulinnya.

Mulowooze ku kyokugaziya amakomera – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nasaba Ababaka nti bwebabeera bakola embalirira y’Eggwanga, ensonga y’okuzimba amakomera bagiteeke ku mwanjo kubanga abasibe basusse obungi. Sipiika agamba nti yayogeddeko n’akulira ekitongole ky’amakomera, Johnson Byabashaija namutegeeza nti omuwendo gw’abasibe gweyongera buli lunaku era kati amakomera tegabamala. Ono agamba ekkomero lye Luzira lyokka ssi ly’eririna okufiibwako wabula n’amakomera amalala.

Enguudo mu Disitulikiti y’e Kassanda zasalwako amazzi

Embeera enguudo zomu Disituliki ey’e Kassanda gyezirimu eyungula ezziga. Oluguudo oluva e Kyakatebe – Lwamasanga – Kyabayima lwasalwako amazzi agatwala ebigoma. Disitulikiti teweebwa nga byuuma bikola nguudo ebyagisuubizibwa. Omubaka Kabuye Frank Kibirige akiikirira Kassanda South agamba nti ssente Disitulikiti zerina zakugula bigoma byokka nga terina nsimbi zakuyisaamu grader.

Okukwata Bobi Wine twali tumutaasa – DIPG Katsigazi

Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force Maj. Gen. Katsigazi avuddeyo nategeeza nti Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine Poliisi okumukwatira ku kisaawe Entebe baali bataasa bulamu bwe n’abawagizi be kuba singa tebakola ekyo abantu bangi bandifudde. Ono agamba nti bamusaba bwaba ayagala okukola ‘One Million Match’ agitwale e Magere […]

Aba opposition njakubagoba bwemutadda mu Palamenti – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo natiisatiisa okugoba Ababaka b’oludda oluvuganya singa banagenda mu maaso nokwebalama entuula za Palamenti olwokuba Gavumenti tenabanukula ku nsonga z’abantu abawambibwa wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu. Ono agambye nti kabatande babulewo mu ntuula 15 ezomuddiringanwa nga tebasoose kufuna lukusa kuva mu offiisi ajja kubagoba. Sipiika era abanenyezza olwokusalawo nebagaana okujja mu […]

Pulezidenti Museveni asisinkanye His Highness Sheikh Mohamed Bin Zayed Al Nahyan

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Ndi musanyufu nnyo okusisinkana His Highness Sheikh Mohamed Bin Zayed Al Nahyan mu Lubiri lwe. Twayogedde ku nsonga nyingi naddala enkolagana wakati w’amawanga gombi, obusuubuzi n’ebirala. Ndi musanyufu okubategeeza nti yakirizza n’okubaawo mu Non-Aligned Movement(NAM) summit mu January 2024.”

Aba ADF batiitiizi nnyo – DIPG Maj. Gen. Kastigazi

Amyuuka omuduumizi wa Uganda Police Force mu Ggwanga, Maj. Gen. Geoffrey Tumusiime Kastigazi agamba abayeekera ba ADF tebalina maanyi nga bwebalowooza wabula batiitiizi kubanga balumba abantu b’abulijjo abatalina kyakulwanyisa kyonna nebabatuusaako obulabe mu kifo ky’okulumba abalina emmundu. Maj. Gen. Kastigazi ayongerako nti essaawa yonna bagenda kumalawo aba ADF kubanga wetwogerera abasinga babasse.

Munnayuganda eyayiyizza ennyonyi Poliisi emugaanye okugibuusa

Uganda Police Force e Mityana eremesezza enteekateeka y’okugezesa ennyonyi eyakoleddwa musaayi muto, Lubega Maluwa omutuuze ku kyalo Ttamu mu disitulikiti ye Mityana. Ono yabadde wakugigezesa olunaku lw’eggulo okulaba amaanyi gaayo era okusinziira ku amyuuka omubaka wa Pulezidenti e Mityana, Prossy Mwanjuzi, Lubega yabadde asabye olukusa wabula Poliisi nemugaana ng’egamba abakugu mu by’enyonnyi balina kusooka kugyekebejja. […]