Uganda egenda kwesuubulira amafuta gaayo

Mustafa Luwemba aliwa? – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mustafa Luwemba aliwa? Mustafa Luwemba yawambibwa nga 19 November 2020 okuva e Kyebando – Nansana ku biragiro bya Yusuf Mugagga, Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM ow’ekitundu. Abavuzi ba booda booda ku siteegi ya Luwemba weyali akolera batandika okuyiggibwa aba Gavumenti oluvannyuma lwabano okubagaana okutimba ku […]

Martin Lukwago aliwa? – LOP Mathias Mpuuga

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mw. Martin Lukwago aliwa? Nga 3 November 2020, mu katale e Bugoloobi mu Divizoni ye Nakawa. Mw Martin Lukwago yava ku mudaala gwe kweyali atundira eby’enyanja nagenda awummuze ku birowoozo ne banne nga bazannya Ludo. Wano abampembe abaali mu ‘Drone’ webabawambira nebabetooloza ekibuga okutuusa ekiro lwebasuula abamu […]

Darius Mugoye aziikiddwa e Sheema

Abantu ab’enajawulo beyiye ku kyalo Rubanga ekisangibwa mu Disitulikiti ye Sheema okuziika abadde omumyuka owookubiri owa Pulezidenti w’ekibiina ekitwala Omupiira gw’ebigere mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA), Darius Mugoye eyafa ku Lwokubiri lwa wiiki eno mu Ddwaliro e Mengo.

Pulizidenti Museveni akakasizza okukwatibwa kweyatta abalambuzi

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza Eggwanga nga abebyokwerinda bwebakutte omuyeekera wa ADF agambibwa okukuliramu okutta abalambuzi mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park gyebuvuddeko, abayizi ku ssomero lya Lhubiriha school, okwokya loole y’obutungulu e Kasese. Ono ategeerekeseeko elya Njovu yakwatibwa ne banne abalala basatu. Mungeri yeemu Pulezidenti Museveni akakasizza Bannayuganda nti obukuumi ku […]

Abadde yeyita owa NDA akwatiddwa e Iganga

Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’Abakungu okuva mu kitongole kya Uganda National Drug Authority e Iganda bakutte Nuwahereza Hamas nga kigambibwa nti ono abadde yeyita Drug Inspector wa UNDA nga akaka abatunda eddagala okumuwa ssente aleme kubaggalawo. and conning unsuspecting people in drug business. We thank the vigilance of our officers and police.

Alien Skin Poliisi emuyigga – Luke Owoyesigyire

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Katwe bwetandise okunoonyereza ku byabaddewo omwabadde n’okutomera emotoka nnamba UBK123C mu bugenderevu ngeno ya Andrew Mukasa aka Bajjo. Bino byabaddewo olunaku lw’eggulo ku ssaawa nga kumi na bbiri ezoolweggulo mu Kirudu zone, Luwafu Parish, Makindye Division, mu Kampala, […]

Entambuza y’emirimu mu Kibuga Arua ejjudde emivuyo – Minisita Akello

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu mu offiisi ya Pulezidenti Akello Beatrice Akori awuniikiridde olw’emivuyo egiri mu ntambuza y’emirimu mu kibuga kya Arua okukakkana nga asazizzaamu okulondoola emirimu egikolebwa mu bitundu ebirala nga agamba tayinza kuva Arua nga tamaze kugigogola. Minisita alombozze byazudde mu baddukanya ekibuga Arua nga agamba boolesezza obwa nnantagambwako obutalabwangako, nga muno […]

Omumyuuka wa Sipiika alambudde olutindo lwa Katongo

Gavumenti etaddewo ensimbi obuwumbi 150 ezigenda okukozesebwa okuzzaawo olutindo lw’omugga Katonga, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka. Olutindo luno lwagwamu ku nkomerero y’omwezi ogwokutaano omwaka guno oluvannyuma lw’omugga Katonga okubooga neguwaguza ekyasannyalaza eby’entambula. Mu kiseera kino emmotoka entono baazikolera ekitundu wezisobola okuyita, wabula ng’ennene ezetikka ebintu ebizito tezinakkirizibwa kuddamu kulukozesa nga zikozesa oluguudo […]

Twagala Kanatta gwemwawamba – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “KANATTA MUHAMMAD ALIWA? Ekiro mumatumbi budde g’olwa 23 December 2020, abampembe abaali babagalidde emigemera wala, bamenya nebayingira enyumba ya Kanatta Muhammad nebamuwamba! Okuva olwo, ab’engaanda n’emikwano tebaddamu ku muwuliza. Kanatta yali mukulembeze mu National Unity Platform NUP mu kitundu kya Mukono North. Uganda Police Force e Mbalala post […]