Bobi Wine akiriziddwa okuddamu okuyingira Bungereza

ISO ne CID mwebale kukola mulimu

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Abagambibwa okutta Senior state attorney Joan Kagezi kyaddaaki bakwatiddwa. Bano kuliko; Kibuuka John, Masajjage John, Kissekka Dan ne Nasur Abdalla. Bano baali batambulira ku piki piki 2. Njozayoza ISO ne CID olw’omulimu omulungi gwebakoze. Bagenda kutwalibwa mu Kkooti.”

Basatu bavunaaniddwa ogwokutta Joan Kagezi

Abawaabi ba Gavumenti beyiye mu Kkooti y’Omulamuzi ow’e Nakawa etwaliddwa abagambibwa okutta Senior State Attorney Joan Kagezi okusomerwa emisango okuli ogwobutemu wamu n’obutujju. Bano tebakiriziddwa kwewozaako kuba ekkooti gyebatwaliddwa terina buyinza kuwulira musango bwegutyo.

Zaake atwaliddwa mu Kakiiko akakwasisa empisa aka Palamenti

Akakiiko ka Palamenti aka Parliament Rules, Discipline, and Privileges Committee katandise okuwulira okwemulugunya okwateekebwayo ku Mubaka Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi. Zaake awerekeddwako Munnamateeka we Erias Lukwago.

Omugga Kafu gubooze

Omugga Kafu gubooze negwanjaala ku kyalo Karongo, Kikonda Parish, Kiromta 19.8 okuva mu Kibuga Hoima nga kino kisanyalazza ebyentambula ku luguudo oluva e Hoima okudda e Kampala ngoyise e Kiboga.

Museveni FDC akyagikozesa nnyo – Hon. Ssemujju

Omubaka wa Munisipaali y’e Kira, Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nategeeza nti ebibiina by’obufuzi mu Uganda tebisobola kubaako kyebikola era nti bijja kusigala ku kimu kyakukozesebwa kulwanirira ddembe lya buntu okutuusa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akkirizza nti omuntu omulala yenna asobola okwesimbawo n’awangula oba n’awangulwa ate awanguddwa nawaayo obuyinza mu mirembe. Ono agamba nti […]

Dayirekita w’essomero eyasobezza ku bayizi 6 aba P7 azirikidde mu kaduukulu

Omwogezi wa Uganda Police Force mu bitundu bya Savana, Sam Twineamazima avuddeyo nategeeza nga Dayirekita w’essomero agambibwa okukabasanya abaana 6 abagenda okutuula ebigezo byabwe ebya PLE ebitandika olunaku lw’enkya bwazirikidde mu kaduukulu ka Poliisi e Luweero. Twineamazima akakasizza nti ono tanateebwa, wabula yatwaliddwa mu Ddwaliro okufuna obujanjabi era nga ali ku mpingu mu Ddwaliro gyali. […]

NRM ewaddeyo obukadde 30 mu kuteekateeka embaga ya Kyabazinga

Ekibiina ki National Resistance Movement – NRM kiwaddeyo ensimbi obukadde 30 ziyambeko mu kuteekateeka embaga ya Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope nga agattibwa ne Inebantu Jovia Mutesi ku Lutikko e Bugembe. Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong yakulembeddemu abakungu okuva mu NRM okutwala ensimbi zino eri Katuukiro wa Busoga Dr.Joseph Muvawala n’olukiiko olutegeka omukolo guno.

Emirambo gyabalambuzi abattibwa mu Queen Elizabeth giweereddwa ab’enganda – Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti emibiri gy’abalambuzi okwali Munnansi wa Bungereza David Jim Barlow ne Munnansi wa South Africa Emmaretia Celia abattibwa abagambibwa okuba aba ADF mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park byebiweereddwa abakungu mu kunoonyereza okubitwala okwaboobwe. Enanga agumizza abalambuzi nti tebasaanye kutya kubanga eby’okwerinda kati binywevu […]

NUP erina beyasuubiza ssente bagambe nti bawambibwa nebatabasasula – UHRC

Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC kavuddeyo nekavumirira ekikolwa ky’akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba eky’okuddira ebifaananyi n’obutambi bw’abantu abagambibwa okubuzibwawo abebyokwerinda nabuteeka ku mikutu gye emigatta bantu nga kwatadde nebaayita ab’enganda z’abantu abo baalaga nga babanja abantu baabwe nebagamba nti buno bulimba bwennyini […]