Buganda ewaddeyo obukadde obusoba mu 100 eri abateesiteesi b’embaga ya Kyabazinga

LOP atandise okugenda mu bitundu gyebawamba abantu be

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba atandise okutalaaga ebitundu ebyenjawulo okusisinkana Ab’enganda z’abawagizi baabwe ababuzibwawo. “YUDA SSEMPIJJA ALIWA? Ssempijja yawambibwa nga 19 December 2020 okuva e Kabembe mu Gombolola ye Kyampisi, District ye Mukono mu Kyaggwe. Yawambibwa n’abantu abalala 5 oluvanyuma abayimbulwa kyokka yye nabuli kati talabikanga.”

FUFA eyanjudde omutendesi wa Uganda Cranes omuggya

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes Paul Joseph Put ayanjuddwa olunaku olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ekitwala omupiira mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) ku FUFA House. Ono ayaniriziddwa avunaanyizibwa ku by’amawulire mu FUFA Ahmed Hussein.

Ekitebe tujja ku kiggulawo enkya – Bobi Wine

Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ategeezezza nti okuggulawo ekitebe ky’ekibiina ki NUP e Makerere – Kavule okubadde kutegekeddwa olwaleero kwongezeddwayo okutuuka olunaku olw’enkya ku ssaawa 5 ezookumakya. Kino kiddiridde ab’ebyokwerinda okusalako ekitebe kino amakya galeero nga tebakkiriza muntu yenna wadde okukisemberera.

Ekifaananyi kya Ssenteza kisiigiddwa ku kitebe kya NUP ekipya

Ekifaananyi kya Frank Ssenteza, omu ku bakuumi ba Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine eyattibwa mu kalulu ka 2021 kisiigiddwa ku bisenge ebiri mu Kitebe ky’ekibiina kino ekiggya ku Makerere – Kavule mu Kawempe. Ssenteza yafa nga 27 December, 2020 oluvannyuma lwebigambibwa nti yatomerwa emotoka y’amaggye nnamba H4DF […]

UHRC eyise omubaka Olanya

Omubaka wa Kilak South mu Disitulikiti y’e Amuru, Hon. Gilbert Olanya ayitiddwa mu Kakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC ku bigambibwa nti yakozesa olulimi olwawulayawula mu bantu era olusiga obukyaayi ku ‘balaalo’ abali mu bitundu by’e Acholi ebiyinza okukuma omuliro mu bantu nebabatuusaako obulabe.

Poliisi eyiiriddwa ku kitebe kya NUP ku Kavule Makerere

Ab’ebyokwerinda bayungudde abawanvu n’abampi nebabayiwa ku kitebe ky’ekibiina ki National Unity Platform – NUP ekiggya e Makerere – Kavule okulemesa enteekateeka y’okuggulawo ekitebe kino mu butongole era tebakkiriza muntu yenna kuyingira. Kino kiddiridde RCC wa Kawempe, Ndidde Yasin Njasabiggu okulagira abakulu mu kibiina kino okunoonya olunaku olulala kuba olwaleero luliko omukolo omulala nga tebalina busobozi […]

Poliisi ekutte ddereeva wa bbaasi eyakwatiddwa ku katambi ngali ku ssimu

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka avuddeyo nategeeza nga bwebakutte ddereeva wa Bbaasi ya kkampuni ya Link nnamba UBG188P Andrew Jjemba 43 ono nga yakwatiddwa ku katambi mwalabikira ngakozesa essimu ye eno nga bwavuga ku luguudo lwa Kampala – Fortportal ono nga bamukwatidde Kyegegwa naggalirwa ku Poliisi ya olunaku lw’eggulo.

IGG yabulwa obujulizi obuluma abagambibwa okutta Abiriga

Ababaka abatuuka ku kakiiko ka Palamenti akalondoola eddembe ly’obuntu kategeezezza Palamenti nga DPP bweyakiriza nti yalemererwa okuvunaana abaali bagambibwa okutta Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hon Ibrahim Abiriga kuba tewaaliwo bujulizi butegeerekeka bwazuulibwa mu kunoonyereza obwali busobola okuluma bano.

Poliisi egobye musajja waayo lwakusobya ku mukazi

Akulira CID ku Namusita Police Post mu Disitulikiti y’e Buyende, D/IP Godfrey Balikoowa agobeddwa mu Uganda Police Force ku bigambibwa nti yekakatika ku mukyala ow’emyaka 30 eyali agenze okuggula ku mwami we omusango gwobutabanguko mu maka. Kigambibwa nti abasirikale 3 bagenda awaka okukwata bbaawe wabula nebatamusangayo, bwatyo omukyala ono yategeeza nga bwatasobola kuddayo waka ng’omusajja […]