Pulezidenti Museveni atongozza ekifo webatendekera eggye lyo ku mazzi e Ntokolo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo yatongozza Ntokolo Marine Pier eyazimbiddwa UPDF Engineers Brigade. Yebazizza Marine Brigadde olwokuzimba eggye lyokumazzi eryatandika nga ttono naye nga kati likuze nga kino kyeyolekera ku bifo awatendekerwa ebyakazimbibwa okuli Butyaba, Entebe ne Ntokolo. Pulezidenti yategeezezza nti eggye lyo ku mazzi lya mugaso nnyo mu kukuuma eggwanga ku mazzi kuba […]
Pulezidenti Museveni alagidde Minisita Kataaha obutakiriza kuwandiisi ttendekero lya Idi Amin Institute
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nawakanya ne ssekuwakanya ekyokuwa ettendekero lya Idi Amin Institute nga lino lyakutumbula emirimu egyakolebwa eyaliko Pulezidenti wa Uganda Field Marshal Idi Amin Dada Oumee nga okusaba kuno kwakoleddwa eyaliko Omubaka wa Obongi County Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Hon. Fungaroo Kaps Hassan. Pulezidenti Museveni agamba nti Gavumenti ya Amin […]
Olukalala lwa University NCHE zeyawa olukusa okusomesa amateeka
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu ekya National Council for Higher Education Uganda erabula Bannayuganda okwewala okusoma amasomo agatakakasibwanga oba okusomera ku ttendekero eritakakasibwanga. NCHE egamba nti ebiwandiiko ebikuweebwa oluvannyuma lwokusoma amasomo agataakakasibwa oba okusomera ku ttendekero eritakakasibwanga tebikirizibwa. NCHE ebawa amagezi okugituukirira osooke webuuze oba nga essomo eryo lyogenda okusoma oba ettendekero lyakakasibwa nga tonewandiisa. […]
Abaweebwa ssente okusima ebidiba e Karamoja ne Teso bazirya
Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’obulimi bawuniikiridde bwebakizudde nti waliwo ebiddiba wamu ne ttanka z’amazzi ezomubiwonvu by’e Karamoja ne Teso sub-regions ebyalina okusimibibwa tebyasimibwa yadde nga Gavumenti yawaayo obuwumbi bw’ensimbi okubizimba okusobola okutumbula ebyobulimi mu bitundu bino. Ssentebe w’akakiiko kano Hon. Janet Okori-Moe ategeezezza nti okugeza dam ya Paylong eyalina okuyamba abantu […]
Agambibwa okutta mukazi we ne muganda we asindikiddwa ku alimanda
Omulamuzi w’eddaala erisooka mu Kkooti e Kasese asindise ku alimanda omusajja ow’emyaka 44 mu kkomera e Mubuku okutuusa nga 11 November 2023 ku bigambibwa nti yatta mukazi we ne muganda we mu Ggombolola y’e Kisinga mu Disitulikiti ey’e Kasese. Okusinzira ku mulamuzi wa Kkooti eno, Nyakana Allan kkooti terina buyinza kuwulira musango guno kwekumusindika ku […]
Gavumenti eteekateeka okweyambisa AI mu kupunta ettaka
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba wamu n’okuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba avuddeyo nategeeza nti Gavumenti yalagidde Abapunta b’ettaka okutandika okukozesa Artificial Intelligence (AI) mu kupunta ettaka okusobola okumalawo entalo z’ettaka mu Ggwanga. Bino yabyogedde aggulawo olukuŋŋaana olw’enaku 2 olw’omulundi ogwa 27 olwa CommonWealth Association of Surveying and Land Economy (CASLE) conference 2023 mu Makerere […]
Commissioner General wa URA asisinkanye abasuubuzi mu Kikuubo
Abasirikale ba Uganda Police Force ne UPDF bayiiriddwa ku offiisi z’ekibiina ekitaba abasuubuzi b’omu Kikuubo ekya Kikuubo Traders Association mu Kampala nga Commissioner General wa Uganda Revenue Authority (URA) John Musinguzi Rujoki agenzeeyo okusisinkana abakulembeze b’abasuubuzi oluvannyuma lw’abasubuuzi okutegeeza nti bagenda kwekalakaasa olwa kyebayise emisolo egitali gyabwenkanya.
Ab’e Ssembabule Ssaabaminisita abasuubizza bayimbi mu kifo kyeddagala mu malwaliro – LOP Mpuuga
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayambalira Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister nti bweyategedde nti atandise okulambula ebitundu ebyenjawulo okulaba emirimu gya Gavumenti bwegikolebwa nadduka za mbwa okwolekera Ssembabule okusisinkana Abakulembeze ba Disitulikiti nabategeeza nga bwabategekedde ekivvulu era nababuuza muyimbi ki gwebaagala abatwalire! ‘Omuyimbi gwemwagala gwendeeta.’ […]
North Korea egaddewo ekitebe kyaayo mu Uganda
Eggwanga lya North Korea nalyo ligaddewo ekitebe kyalyo mu Uganda nga wakayita wiiki emu yokka nga ne Ggwana lya Norway ligaddewo. Amawulire g’okuggalawo ekitebe kya Korea gategezeddwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu nsisinkano gyeyabaddemu n’omubaka wa North Korea mu Uganda H.E Jong Tong Hak eyamukyaliddeko mu State House Entebe.