Gavumenti etandise okuteeseganya ne Opposition – Sipiika Tayebwa
Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa avuddeyo nategeeza nti enteeseganya zitandise wakati w’oludda oluvuganya ne Gavumenti okukomya okwekalakaasa baddeyo mu Palamenti. Kinajjukirwa nti bano balayira obutadda mu Palamenti okutuusa ng’ensonga zaabwe ez’eddembe ly’obuntu zigonjoddwa wabula Tayebwa agamba nti Palamenti ebeera tejjudde nga bano tebaliimu.
Habib Buwembo aziddwayo ku alimanda
Omulamuzi ku Kkooti ya City Hall mu Kampala azizzaayo omuwagizi wa National Unity Platform, Buwembo HABIB ku alimanda okutuusa nga 9 omwezi oguggya lwanakomawo okusaba okweyimirirwa. Buwembo yakwatibwa omwezi oguwedde ku bigambibwa nti yayogera ku Sipiika wa Palamenti, Anitah Among ebigambo nti yabba amabaati agaali galina okuyamba abantu b’e Karamoja.
Minisita Kasaija jangu onyonyole ku bya Capital Chicken – Sipiika Tayebwa
Amyuuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, alagidde Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija alungamye Bannayuganda ku bafere ababba ssente zaabwe nga berimbika mu kukwatagana nabo mbu basigire wamu ensimbi basobole okugaggawala amangu. Tayebwa kino akyesigamizza ku Kampuni ya Capital Chicken eyakuliita ne ssente za Bannayuganda ezisukka mu buwumbi obubiri nagamba nti tebayinza kutuula butuuzi nga bino bigenda […]
Abazungu temujja kungigiriza kutegeka kalulu – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bano Abazungu bajja gyendi mbu bansomese engeri gyenina okutegekamu akalulu. Manyi engeri gyentegekamu akalulu, nze nina okubasomesa. Mwe mugenda mu maka g’omuntu nebatandika okumusomesa bwalina okutegeka ennyumba ye. Mbu eno entebe erina kubeera wano.”
Nsaasira abennyumba ya Baryomunsi – LOP Mpuuga
Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform, Mathias Mpuuga Nsamba eyakulemberamu eky’ababaka ku ludda oluvuganya okuziira entuula za Palamenti okutuusa nga Gavumenti evuddeyo nebalaga wa abantu baabwe abazze bawambibwa gyebali, olwaleero azzeemu n’alabikako mu Palamenti nakigumizza nti tebakyasobola kuddamu kutuula ne bawuliriza kintu kyonna nga tebamanyi mayitire g’abantu babwe 18 okuli […]
Omubaka Nyakato alumirizza aba Poliisi okunyiga amabeere
Omubaka Omukyala ow’e Kibuga Hoima Asinansi Nyakato ayozezza ku munye bwabadde annyonyola Palamenti engeri Abasirikale ba Uganda Police Force gyebamunyigamu amabeere bwebaali bakwata Ababaka abakyala ku Palamenti bwebaali bagezaako okutambula okwolekera Ministry y’Ensonga zomunda mu Ggwanga okulaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri abebyokwerinda gyebakwatamu Ababaka ab’oludda Oluvuganya abaali bagenda okujaguza olunaku lw’abakyala mu Disitulikiti zaabwe.
Omuliro gusanyizaawo bya bukadde
Nabbambula w’omuliro atanaba kutegeerekeka kwavudde asaanyizaawo emmaali y’abasuubuzi eri mu bukadde n’obukadde ku Kaleerwe ku njegoyego z’ekibuga Kampala. Omuliro guno gutandise mu ttuntu lyaleero awo ng’enkuba egenda kutandika.
Ssaabaminisita Nabbanja atikiddwa ddiguli eyookubiri
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister olunaku olwaleero atikiddwa ddigiri eyookubiri eya Master of Arts Degree in Monitoring and Evaluation okuva mu Nkumba University. Hon. Gen. Edward Katumba Wamala, Minisita w’ebyenguudo n’entambula ye aweereddwa Honorary Doctorate okumusiima olw’ebirungi byakoleddwa Eggwanga.
Poliisi ezudde tuleela yamafuta eyabbibwa e Bukoyo
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti tuleela eyali etisse amafuta ekika kya Mercedes Benz, nga ya blue nnamba UAU 402E, eyabbibwa ku mudumu gw’emmundu abasajja 5 abaali babagalidde emigemerawala nga 21.10.2023, ku ssaawa 3 ez’ekiro ku kyalo Bukoyo ku luguudo lwa Iganga-Jinja bweyazuuliddwa ngesuuliddwa mu Kibuga Jinja n’amafuta gettaala geyali etisse […]