Minisita Katumba alagidde IGP okukwata abasirikale abateekebwa ku Katonga

CMI, ISO ne Flying Squad bali ku muyiggo gwababbye gold

Ab’ebyokwerinda okuli aba CMI, ISO ne Flying Squad bali ku muyiggo gw’ababbi ababadde batambulira mu ‘Drone’ abagambibwa okuteega aba kampuni ya Bullion Refinery (U) Ltd esangibwa mu Arua nebabbako zzaabu abalirirwamu obuwumbi bubiri n’ekitundu. Kigambibwa nti ababbi bano basazeeko emmotoka kika kya Wish nnamba UBE 139G omwabadde zzaabu ono mu katawuni ke Nseke, ku kyalo […]

Bebawambira abantu bammwe muwabire aba Opposition ababakunga – Lilian Aber

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kitgum Hon. Lillian Aber Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM avuddeyo nategeeza nti aba kuba nga ye muzadde w’abantu ababuzibwawo, yanditutte ab’Oludda oluvuganya Gavumenti mu Kkooti. Ono agamba nti bano yandibatutte kuba bebakunga abantu baabwe okugenda gyebagamba nti gyebabakwatira.

Temubikirira bibi bikolebwa Gavumenti kuba mugiwagira – Hon. Katuntu

Omubaka akiikirira Bugweri County, Abdul Katuntu avuddeyo natabukira Ababaka ababikkirira ebikolobero ebikolebwa Gavumenti eri mu buyinza olw’okuba bagiwagira n’agamba nti bano tebalina njawulo na Pulezidenti Idi Amin abasinga gwebavumirira. Katuntu yewuunyizza omuntu okuvaayo n’awakana nti ekiwamba bantu tekiriiwo mu Ggwanga ng’ate waliwo abalumiriza nti w’ekiri n’abasaba bakomye okwekkiriranya wabula basonge ku bibi ebikolebwa Gavumenti yaabwe […]

Palamenti eragidde Munnamateeka asasule obuwumbi 39 obwamuweebwa

Palamenti eragidde Munnamateeka, Patrick Katabaazi Kiconco okusasula ensimbi obuwumbi 39 zeyafuna okuva mu National Agricultural Advisory Services (NAADS) ezaali ezokusasula abalimi b’amajaani mu buggwanjuba bwa Uganda. Ono aweereddwa ebbanga lya myezi 6 okusasula ssente zino oba okuvunaanibwa omusango gwokubulankanya ensimbi y’omuwi w’omusolo.

Poliisi ekutte abavubuka besanze besiyaga mu nkuba

Uganda Police Force ya Old Kampala ekutte abavubuka 2 okuli; Mugenyi Kuzaifah 23 ne Richard Kabale Imuran 23 abasangiddwa mu kikolwa ekyokwesiyaga mu Saloon ewa Bakuli enkuba bweyali ettonya.

Mulekerawo ebyobufuzi ebyokukyamukiriza – Robinah Nabbanja

Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister atandise kaweefube ow’okugoba obwavu mu bantu abawangaalira mu masoso g’ebyalo. Kaweefube ono amutongolezza mu Disitulikiti y’e Kalungu ne Bukomansimbi. Ssaabaminisita Nabbanja akolokose Bannabyabufuzi naddala abavuganya Gavumenti okukomya ebyobufuzi eby’okukyamuukiriza abantu byagamba nti tebirina gyebibatwala.

Pulezidenti Museveni alagidde Kyemba aziikibwe mu bitiibwa

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira nti eyaliko Minisita w’ebyobulamu mu Ggwanga Hon. Henry Kisaja Magumba Kyemba aziikibwe mu bitiibwa by’Eggwanga ebijjuvu. Bino byanjuddwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obwa Pulezidenti Hon Milly Babirye Babalanda n’agamba nti enteekateeka zakwanjulwa gyebujjako.

Uganda Airlines etongozza olugendo lw’e Nigeria

Uganda Airlines olunaku olwaleero etongozza olubuuka lwayo okwolekera ekibuga Lagos, mu Nigeria. Uganda Airlines esuubirwa okugenda e Lagos emirundi 3 buli wiiki okusobola okuyunga Uganda ku mawanga g’obugwanjuba bwa Afirika. Uganda yakizudde nti ensi zino zetaaga ebibala wamu n’amakungula amalala okuva mu byobulimi.

Zaake alina ekizibu ku bwongo – Hon. Nantaba

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kayunga, Ida Erios Nantaba avuddeyo nategeeza nti Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana, MP Zaake Francis Butebi aliko ekikyamu ku mutwe era yetaaga kuyambibwa atereere. Ono agamba obuzibu Zaake bwalina buyinza okuba nga buva ku mirundi emingi gyazze akubibwa nga ali mu by’obufuzi oba nga enkuza ye y’embi. Nantaba agamba ono […]