Kasolo ne banne basingisiddwa omusango gw’obutemu
Kkooti Enkulu mu Kampala esingisizza Abantu 5 omusango gwobutemu obwakolebwa mu 2019. Bano basingisiddwa omusango gwokutta Maria Nagiriinya ne Ddereeva we Ronald Kitayimbwa. Bano 5 nga bakabinja ka B-13 ekyatigomya nga Abantu mu jam e Nateete. Bano kuliko; Kasolo Compriyam aka Arsenal, Lubega Johnson aka Manomano nabavuzi ba Booda booda Hassan Kisekka, Mpanga Sharif ne […]
Nabbanja vvaayo mangu onyonyole ku byokukwata aba NUP – Sipiika Tayebwa
Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa atadde Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister okuvaayo mu bunnambiro ayanukule ku bigambibwa nti abebyokwerinda bakozesa eryanyi, obukambwe obusukiridde wamu n’ebikolwa ebyokulumya bwebaali bakwata Abakulembeze ba National Unity Platform ssaako n’okusalako ekitebe ky’ekibiina.
Minisita Oboth Oboth naye yeyanjudde ku CID
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda n’abazirwanako Jacob Oboth Oboth naye atuuse ku kitebe kya Uganda Police Force ekya Criminal Investigations Directorate e Kibuli, mu Kampala okukola sitaatimenti endala ku bikwatagana n’amabaati agalina okubeera agabayinike e Karamoja agamuweebwa wabula nga yagazizzaayo nebagaana okugakwata olunaku lw’eggulo. Abasirikale ba Military abamukuuma bagaaniddwa Abasirikale ba Counter Terrorism okuyingira […]
SID ekutte 3 abagambibwa okutunda abaana abawere
Omwogezi w’ekitongole ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID mu Uganda Police Force Charles Twiine avuddeyo nategeeza nga Abasirikale okuva mu SID bwebakutte abantu 3 nga kuliko nomusawo nga kigambibwa nti bano babadde benyigira mukubba n’okukukusa abaana abawere. Bano basangiddwa n’obukadde 64 bwebabadde bagenda okugulamu omwana omuwere ow’emyezi 2 okuva ku Maama we e Kitende nga […]