Sipiika Among ne Munno mwagala tusooke kubooleza masowaani mu maka gammwe mulyoke muleete amabago gaffe? – Babaka

Toddamu kukozesa linnya lya Mirundi twakuzaalukuse – Famire ya Mirundi

Bino bye byakanyiziddwako mu Lukiiko olwagobye Tamale Mirundi Jr mu Kika. 1. Takkirizibwa kuddamu kukozesa linnya lya ‘Mirundi’ (Linnya lya Famire). 2. Takkirizibwa kuddamu kulinnya mu maka ga Taata we Ssali John Ssembuya (Omusika wa Jajjaawe). 3. Takkirizibwa kuddamu kukolagana n’abaana n’abazzukulu b’omugenzi Yokaana Mirundi (eyali Jajjaawe). 4. Takkirizibwa kuddamu kusalimbira ku nnyumba y’Ekika esangibwa […]

Ivory Tower eggulwawo lwaleero mu butongole

Olunaku olwaleero ekizimbi kya Main Building Ivory Tower ekya Makerere University ekyazzeemu okuzimbibwa olubvannyuma lwokukwata omuliro lwekiggulwawo mu butongole era ne Chancellor omuggya lwagenda okutuuzibwa. Kigambibwa nti Gavumenti omulimu guno yagutaddemu obuwumbi 21. Kyo ekitundu ekyebweru kyazeemu okuzimbibwa okulabika nga bwekyali, yo munda wakyuusiddwa okutuukana n’omutindo oguliwo kati. Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasuubirwa okuguulawo ekizimbe […]

Owa Poliisi eyasse muganzi we bamukwatidde Jinja

Omusirikale wa Uganda Police Force Police constable Adia Alex, nga mu kitongole kya CT tactical mu nkambi ye Naguru mu kiro ekikeesezza olwaleero akubye eyali mukyala we amasasi agamutiddewo bwamusanze n’omwagalwa we omuggya gwabadde yakafuna.Amasasi gano era gakwatiddemu omusirikale omulala abadde yebase mu nnyumba ye negamuttirawo.Bya Kamali James#ffemmwemmweffe

Poliisi erangiridde ekikwekweto ku booda booda abatambala Helment

Omwogezi w’Ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP Kananura Micheal avuddeyo nategeeza nga Poliisi okutandika n’olunaku olw’enkya bwegenda okuttukiza ebikwekweto byokukwata oyo yenna anasangibwa ngavuga piki piki wabula nga talina kikofiira ki katamu. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe

Ebya Bobi Young ne Achileo Kivumbi bijjuridde

Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Achileo Kivumbi ne BOBI YOUNG baleeteddwa olwaleero mu Kkooti y’Amaggye okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Shamim Malende ategeezezza nti Gavumenti esabye obudde kukusaba kwa Achileo okutuusa nga 15/10/2024 lwenavaayo okwanukula. Kwo okusaba kwa Bobi Young kwakuwulirwa nga 15/10/2024. #ffemmwemmweffe

Pulezidenti abantu bange abakadde babasobyako – Ssentebe Isabirye

Sentebbe wa w’akakiiko k’Abakadde mu Ggwanga Isabirye Charles aloopedde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ebizibu abantu be byebayitamu omuli nokubakaka akekinyi ssaako okubabbako ettaka lyabwe. Bino babitisse omumyuuka w’omukulembeze w’Eggwanga Rtd Maj. Jessica Alupo amukiikiridde e Masaka. #ffemmwemmweffe Bya Margaret Kayondo

Kitalo! Abaana 2 bafiiridde mu nkuba e Masaka

Kitalo! Abaana babiri bafiiridde mu nkuba etonnye ngenaggwa mu ggulu oluvannyuma lwokutwalibwa mukoka booda booda kwebabadde batambulira ne nyabwe bweremeredde omugabo nebagwa mu mazzi negabatwala. Ye Nnyabwe nowa booda booda basimatuse. Enjega eno yagudde Masaka olunaku lweggulo. Bya Maggie Kayondo #ffemmwemmweffe

Kitalo! Omukyala asangiddwa ku Northern Bypass nga atiddwa

Kitalo! Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force bwetandise okunoonyereza kuligambibwa okubeera ettemu eryakoleddwa ku Mukyala asangiddwa okuliraana ku ttaawo lya Agenda mu Kamuli A’ Zone, Kireka ward, Namugongo Division, mu Disitulikiti y’e Wakiso enkya yaleero. Omukyala atemera mu myaka nga 30 asangiddwa ngasuuliddwa ku kubo nga talina […]

Hon. Jolly Mugisha aziikibwa lwaleero

Bannabyabufuzi okuva mu bibiina ebyenjawulo okuli Allaince for National Transformation nga bakulembeddwamu Gen. Mugisha Muntu, Winnie Kiizza nabalala begasse ku Bannakibiina kya National Unity Platform abakulembeddwamu Pulezidenti w’Ekibiina Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Dr. Lina Zedriga Waru, David Lewis Rubongoya kwossa n’Ababaka okuli Hon. Shamim Malende bebamu ku beetabye mukusabira omwoyo gw’omugenzi Hon. Jolly […]