Erik Ten Hag agobeddwa oluvannyuma lwa Manchester United okukubwa ggoolo 2 ku 1

Aba National Council for Sports baweereddwa buwumbi ku nteekateeka za AFCON

Omuwandiisi omukulu mu Mnisitule y’Ebyenfuna Ramthan Ggoobi avuddeyo olunaku olwaleero nafulumya ensaasaanya y’ensimbi ezayiyisibwa mu mbalirira y’omwaka gwebeynfuna 2024/25 bwengenda okubeera mu kitundu ekisooka ekyomwaka. Ono agumizza Bannayunga nga nti balina kutya kwona nti era ensimbi zino zakusaasanyizibwa mu bwenkanya. Bya Kayanja Ernest

Kitalo! Omutendesi Kajoba afudde

Kitalo! Eyaliko omusambi wa ttiimu y’Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y’Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Minisitule y’ebyenjigiriza eyagala obwesedde 2 mu obuwumbi 100 okutegeka AFCON 2027

Minisitule y’Ebyenjigiriza n’emizannyo yetaaga obwesedde 2 mu obuwumbi 100 okusasulako ekitundu ku nsimbi Uganda zirina okusasula ekibiina ekitwala omupiira ku lukalu lwa Afirika ekya Confederation of African Football – CAF okutegeka ekikopo kya AFCIN 2027, okutandika okuzimba ebisaawe 2 ebirala ebyetaagibwa wabula tewaliiwo nsimbi ku zino ziteekeddwa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2024/25.

Empaka za Mulimamayuuni cup zakomekerezeddwa

Empaka za Mulimamayuuni Cup ezategekebwa Omubaka akiikirira Mukono County North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Abdallah mu kaweefube w’okukulaakulanya ebitone kyakomekerezeddwa nga buli ttiimu eyetabyeemu yaweereddwa omujoozi n’emipiira, ttiimu eyawangudde yetwalidde ente. Mu ngeri yemu era Omubaka Ono yaduukiridde abavubuka abavuga booda booda nga bakola ebibiina byabwe mwebatereka ssente, yabawadde piki piki piki empya. […]

Harry Maguire akirizza okwetonda kwa MP w’e Ghana

Omubaka wa Palamenti ow’Eggwanga lya Ghanan Isaac Adongo eyavaayo nageraageranya Minisita ku muzibizi wa Manchester United Harry Maguire eyali asamba obubi omwaka oguwedde yavuddeyo namwetondera era namuwaana olw’ensamba ennungi gyayolesa kati. Maguire akirizza okwetonda kwe nategeeza nti amwesunga okumulabako ku Old Trafford.

Kitalo! Darius Mugoya afudde

Kitalo! Omumyuuka w’omukulembeze w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Darius Mugoya afudde enkya yaleero. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Mengo.

Ssimbwa ye mumyuuka w’omutendesi wa Uganda Cranes omuggya

Omutendesi wa Uganda Cranes omuggya Put Paul Joseph alonze Sam Ssimbwa ngomumyuuka we. Ekitongole ekitwala omupiira ogwebigere mu Ggwanga ekya FUFA kikiriziganyizza naye era Ssimbwa atandikiddewo emirimu gye. Abanamuyambako abalala bakulangirirwa oluvannyuma.  

Omusambi wa New Castle akaligiddwa emyezi 10 nga tasamba mupiira lwakusiba kapapula

Omuzannyi wa ttiimu ya Newcastle munnansi wa Italy, Sandro Tonali akaligiddwa emyezi 10 nga teyeetaba mu muzannyo gwa mupiira oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusiba akapapula. Tonali yakwatibwa wiiki ewedde bweyali agenze okwegatta ku ggwanga lye nga bagenda okuzannya emipiira gy’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’amawanga ga Bulaaya omwaka oguggya.

Pulezidenti w’ekibiina ekitwala Baseball afukamiridde Minisita abagulire tiketi z’ennyonyi

Pulezidenti w’omuzannyo gwa baseball ne softball mu Uganda Felix Okuuye yawaliriziddwa okufukaamirira Omubeezi wa Minisita owebyenjigiriza avunaanyizibwa ku by’emizannyo Hon. Peter Ogwang ngamusaba okufunira ttiketi 2 ezennyonyi ziweebwe abazannyi okugenda okwetaba mu mpaka za baseball ez’Ensi yonna eziyindira e Japan. Ono agamba nti w’ekibiina kyatwala ekya Uganda Baseball and Softball Association kyakola dda ku bintu […]