Morocco 1 – 0 Portugal
#SimbaSportsUpdates; Ttiimu y’eggwanga lya Morocco ewandudde ttiimu y’eggwanga lya Portugal mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna eziyindira e Qatar bwekikubye ggoolo 1 ku 0. Morocco ly’eggwanga lya Afirika lyokka erituuse ku mpaka ezidirira ezakamalirizo.
Manchester United esazizzaamu endagaano ya Cristiano
Manchester United evuddeyo netegeeza nga bwesazizzaamu endagaano ne Cristiano Ronaldo mbagirawo. Man U egamba nti batuuse kunzikiriziganya era kkiraabu nemwebaza byagikoledde.
Sipiika yomu ku balabye omupiira gw’abakyala e Njeru
Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Anitah Among yegasse ku Pulezidenti wa Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Eng. Moses Magogo ku mupiira gwa liigi y’abakyala wakati wa Kampala Queens ne Olila High School ku FUFA Technical Centre, Njeru (Jinja).
Poliisi yefuze omuzannyo gwa tayikondo mu mpaka z’ebitongole ebikuuma ddembe
#SimbaSportsUpdates; Uganda Police Force yefuze omuzannyo gwa tayikondo ow’abakyala n’abaamu mu mpaka za Inter-forces Games 2022 eziyindira emu Mweya Peninsula, Kasese nga kati yakawangula emiddaali 16 nga kugino 6 gya zzaabu, 5 gya ffeeza ate 5 gya kikomo. Mu mizannyo egyazanyiddwa nga 25-September ku Uganda Wildlife Research Institute e Katwe- Kabatooro town, mu kibinja ky’abasajja […]
Lufula 2 – 0 Kiseka Market
#SimbaSportsUpdates; Team Chairman MK Project Micheal Nuwagira wamu ne Suzan Tushabe Ssentebe wakatale ka Owino babaddewo nga abajulizi ttiimu ya Lufula bweyabadde ekuba ttiimu y’akatale ka Kiseka ggoolo 2 ku 0. Guno gwegumu ku mipiira gyekikopo ekimanyiddwa nga City Markets Tournament nga kyetabiddwamu obutale mu Kibuga Kampala 18 nekigendererwa ekyokutumbula ebitone.Omuwanguzi bakwewangulira ekikopo wamu ne […]
Okwaput, kkirabu okuve e Cyprus emukansizza
#SimbaSportsUpdates; Omusambi wa Ttiimu y’eggwanga eyabakyala Crested Cranes Fazilah Okwaput akoze endagaano ya mwaka gumu ne kkiraabu ya Cyprus emanyiddwa nga OMONIA FC.
Katikkiro asisinkanye Pulezidenti wa FUFA Magogo
#SimbaSportsUpdates; Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Pulezidenti w’ekiniina ekifuga omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Eng. Hon. Magogo Moses Hassim-FUFA President ne tiimu eziva mu Buganda ezigenda okwetaba mu mpaka za FUFA Drum. Ensisinkano ebadde ku Bulange.
Munnayuganda Chelimo awangudde omuddaali ogw’ekikomo
#SimbaSportsUpdates: Munnayuganda Oscar Chelimo awangudde omuddaali ogw’ekikomo oluvannyuma lw’okukwata eky’okusatu mu misinde eja mita 5000 nga aziddukidde eddakiika 13:10.20 mu mpaka za World Athletics championship. Ye Joshua Cheptegei amalidde mu kifo kya 9.
ASP Joshua Cheptegei awangudde omuddaali ogwa zzaabu
#SimbaSportsUpdates; Munnayuganda ASP Joshua Cheptegei awangudde omuddaali ogwa zzaabu mu kiro ekikeesezza olwaleero mu misinde gyabasajja ekya mita 10,000 mu mpaka za World Athletics Championships Oregon22 mu kisaaee kya Hayward mu Eugene, Oregon.