Katikkiro bamwanjulidde ekikopo Buddu kyeyawangula
Ttiimu y’e Buddu nga ekulembeddwamu Pookino Owekitiibwa Jude Muleke, banjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga ekikopo kyebawangula mu mpaka z’Amasaza ezomwaka oguwedde. Omukolo gubadde mu Butikkiro olwaleero. Katikkiro akkaatirizza ensonga yempisa nti ya nkizo mu kutumbula ebyemizannyo.
Express FC egobye omutendesi Wasswa Bbosa
#SimbaSportsUpdates; Kkiraabu ya Express Football Club evuddeyo netegeeza nga bwegobye omutendesi Wasswa Bbosa. Abadde omumyuuka we James Odoch kati yakwasiddwa okugira nga atambuza emirimu gy’omutendesi okumalako Sizoni ngayambibwako omutendesi waba Goal Keeper Daniel Kiwanuka.
Eyali emunyeenye ya Yuganda Ssenyange kati asula ku nguudo e Netherlands
#SimbaSportsUpdates; Ahmed Ssenyange “French Cut” eyali Midfielder owenjawulo amaze emyaka 2 ngasula ku nguudo mu Ggwanga lya Netherlands. Ssenyange yegatta ku KCC kati KCCA FC mu 1989 ngava mu Namilyango College okutuusa mu 1994 gyeyasisinkanira abasambi abamaanyi okuli; Jackson Mayanja , George Nsimbe , Sadic Wassa Baker Masiko , Sam Simbwa n’abalala. Mu 1995 yegatta […]
Omulimu gwokudaabiriza ekisaawe ky’e Namboole gutandise mu butongole
#SimbaSportsUpdates; Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo Hon. Hamson Obua olunaku olwaleero akwasiza ekitongole ky’eggye lya UPDF ekizimbi mu butongole ekisaawe kya Mandela National Stadium – Namboole, okutandika okukidaabiriza wamu n’okukituusa ku mutindo gw’ensi yonna. Batandise nakuzimba kikomera okwetoloola ettaka ly’ekisaawe lyonna n’oluvannyuma batandike okudaabiriza ekisaawe.
Palamenti ewadde Ssekitooleko obukadde 9
#SimbaSportsUpdates; Ababaka ba Palamenti basondedde Munnabyamizannyo Julius Ssekitoleko eyali adduse mu nkambi e Japan mu Olympics nakwatibwa nazzibwa e Yuganda obukadde 9 bumuyambeko okwekulaakulanya. Ababaka bagamba nti wadde yasiiga ekifaananyi ekibi naye yetaaga okuzaamu amaanyi akole wamu nokulaakulanya ekitone kye.
Kitalo! Kkiraabu ya Mvara Boys efiiriddwa abantu 2
#SimbaSportsUpdates; Kkiraabu ya SC Villa evuddeyo netuusa okusaasira kwayo eri Kkiirabu ya Mvara Boys Football Club abafiiriddwa omukungu wamu n’omuwangizi bbaasi mwebabadde batambulira okugenda e Packwach bweyawabye neva ku luguudo. #SCVUpdates | #WeAreTheJogoos | #TheJogoos
Lwakataka awangudde emotoka z’empaka
#SimbaSportsUpdates; Ponsiano Lwakataka ne Paul Musaazi nga bavuga Subaru Impreza N12B bawangudde emotoka z’empaka eza 2022 Rukaari – Lake Mburo Mbarara rally nga zino z’empaka eziguddewo Calendar y’emotoka z’empaka. Ono ategeezezza nti kati akomyeewo n’amaanyi mapya.
Manchester United 1 – 0 West Ham United
#SimbaSportsUpdates; Mu mpaka za Premier League Manchester United ekubye West Ham United Ggoolo 1 ku 0 nga ggoolo ya Man u eteebeddwa Marcus Rashford mu ddakiika eye 90+3. Manchester City yakulembedde ekimeeza mu mipiira 22 alina obubonero 56, Liverpool FC emipiira 21 obubonero 45, Chelsea Football Club emipiira 23 obubonero 44, Manchester United emipiira 22 […]
Eng. Moses Magogo akyamudde enkambi ya U20 eyabawala
#SimbaSportsUpdates; Lyabadde ssanyu mu nkambi ya ttiimu y’eggwanga eyabakyala abali wansi w’emyaka 20 ku Kisaasi Paradise Hotel nga Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Hon. Magogo Moses Hassim atuukiriza okusaba kwa ttiimu okukyuusa ku byokulya ku Sunday ekiro. Abawala bamusabye abagulire KFC era nebagibaleetera. Ttiimu eri mu nkambi nga […]