Murushid Jjuuko awumudde ogwa ttiimu y’eggwanga

Eyalamula ogwa Onduparaka awereddwa okutuusa June-2022

#SimbaSportsUpdates; Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kivuddeyo nekifulumya alipoota oluvannyuma lwokwekeneenya akatambi akakwatibwa mu mupiira gwa Uganda Premier League 2021/22 ogwali wakati wa Onduparaka FC ng’eyambalagana ne KCCA FC nga 27-Dec-2021 ku Green Light Stadium. Akatambi kano kaweerezeddwa mu Referees Technical Panel nebekkaanya okusalawo okwakolebwa Centre referee […]

Jurgen Klopp siwakubeera ku kisaawe nga Liverpool eyambalagana ne Chelsea

#SimbaSportsUpdates; Kikakasiddwa nga omutendesi wa Liverpool FC Jürgen Klopp bwatagenda kubeera ku kisaawe olunaku lw’enkya bwebanaaba bambalagana ne Chelsea Football Club oluvannyuma lwokukeberebwa nazuulibwa nti alina ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lumiimamawuggwe owa #COVID-19.

IGP awadde abaddusi ba Poliisi emotoka

Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP J.M Okoth-Ochola, olunaku lw’eggulo yakwasizza abasirikale ba Poliisi abaddusi b’emisindi emotoka enabayamba nga ku byentambula. Omukolo gwabadde ku kitebe kya Poliisi e Naguru.

IGP Ochola akuzizza abasirikale ba Poliisi abawangula emiddaali mu misinde e Tokyo

Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Martins Okoth Ochola olunaku olwaleero wakukuza abaddusi ba Poliisi bonna abawangulira Yuganda emiddaali mu mizannyo gya Olympics e Japan omwaka guno ng’omukolo guli ku kitebe kya Poliisi e Naguru. Bano bakulembeddwamu Joshua Cheptegei.

Kitalo eyaliko omutendesi wa Rugby Cranes afudde

Kitalo! Eyaliko omutendesi era kkapiteeni wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Rugby Cranes, Robert Sseguya aka Soggy afudde ku myaka 43. Ono obulwadde obumusse ye kkookolo w’omusaayi.

Omubaka Zaake awangudde emisinde mu Arusha

Ababaka ba Palamenti aba Yuganda beriisizza nkuuli mu mpala ezigenda mu maaso mu Arusha. Omubaka MP Zaake Francis Butebi yawangudde emisinde egya mita 100, Hon. Mbwatekamwa nawangula ezamita 400 ne 1500. Phiona Nyamutoro yawangudde eza mita 100 ne 200.   #eacgamesarusha #EACGAMESARUSHA

Golola owedde, omusudani yewera

Omukubi w’ensambaggere Munnansi wa South Sudan James Majok Geu mu ‘training’ nga yetegekera olulwana lwokuddiŋŋana ne Golola Moses mu December 2021 mu Kampala.

Poliisi ne UPDF bakubye abasambi b’omupiira emiggo e Moyo

Amawulire agava mu Disitulikiti y’e Moyo galaga nti waliwo abasambi b’omupiira 3 wamu n’omu ku bakungu batiimu abakubiddwa abasirikale ba Uganda Police Force ne UPDF mu kiro oluvannyuma lw’emotoka yaabwe okubafaako bwebabadde bava mu Disitulikiti y’e Maracha gyebabadde bagenze okwetaba mu mpaka za Regional Women Football Cup Tournament. Poliisi egamba nti bano babadde batambulira mu […]

FUFA Ethics Committee ebonerezza omutendesi wa Police FC

Akakiiko k’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) akakwasisa empisa aka FUFA Ethics and Disciplinary Committee kaweesezza engasi omutendesi wa Uganda Police Football Club Abdallah Mubiru ya bukadde 2 olwebyo byeyayogera oluvannyuma lw’omupiira gwebasamba ne ONDUPARAKA FOOTBALL CLUB wamu n’okuvuma ‘Match official’. Agaaniddwa okwenyigira mu muzannyo gw’omupiira okutuusa nga […]