Poliisi ekutte ababbi b’ente e Kajjansi
Poliisi enawunyi ey’e Kajjansi ekutte emotoka ebaddeko ente 12 enzibe n’abasajja babiri wabula omu akubiddwa amasasi agamutiddewo. Bano babadde babye ente mu bitundu eby’e Nakigalala. Moses Nsubuga ne Hassan Kashumba bebakwatiddwa n’ente enzibe erea bagiddeyo abasirikale ababadde basudde emisanvu mu kkubo amajambiya nga baagala okubatema okukkakana nga omu amanyiddwa nga Nsubuga Moses akubiddwa amasasi n’afiirawo. […]
Poliisi ye Naggalama ekutte abasajja bana ne Airtime wa MTN ow’ebiccupuli
Poliisi ye Naggalama ekutte Benin Biraaro, Robinson Muheki, Simon Bwambale ne Isaaz Akankwatsa ne Airtime wa MTN nga abalirirwamu obukadde 112.5. Bano poliisi ebadde ebanoonya okumala emyezi 7. Okunoonyereza kulaga nti bano babadde bakugu mukukuba airtime ow’ebiccupuli era nga babadde bamukubira mu Democratic Republic of Congo (DRC) nebaleeta mu Uganda nga bayita e Kihihi mu […]
4 bafiiridde mu nnyanja, 2 basimattuse – Katosi
Abantu bana bagudde mu nnyanja Nalubaale nebafiiramu nga kino kivudde ku lyato mwebabadde basaabalira okulemererwa nelibayiwa mu nnyanja bwebabadde bagenda okuziika munnabwe ku kyalo Mitala ekisangibwa okuliraana omwalo gw’e Katosi mu Disitulikiti y’e Mukono. Abantu bano babadde bava ku mwalo gw’e Bunankanda nga boolekera ku gw’e Katosi balyoke bagende ku kyalo gyebabadde bagenda okuziika munnaabwe […]
2 abateeberezebwa okubba Boda boda bookeddwa – Kiboga
Abasajja 2 abateeberezebwa okubba Boda boda abatuuze babaguddeko ekiyiifuyiifu nebabakuba emigoba nte egibaserengesezza ekalannamo oluvannyuma n’emirambo nebagikumako ennaali wamu n’emmotoka mwebabadde batambuliza pikipiki . Abantu bano babadde basatu , omu mukazi amanyiddwa nga Namande Prossy (27) era nga ye asimattuse okuttibwa , Police yeemutaasizza nga agenda kugiyambako okunoonyereza . Bano babadde batuuze ku kyalo Lubaga […]