PC Wabwire atwaliddwa mu Kkooti

PC Wabwire asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road, Sarah Tusiime Bashaija asindise omuserikale wa Uganda Police Force PC Wabwire Ivan eyakuba omuyindi omuwozi w’ensimbi Uttam Bhandari amasasi agamuttirawo ku Raj Chambers mu Kampala ku Alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 7 omwezi ogujja. Omuwaabi wa Gavumenti Joan Keko ategeezezza Kkooti nti bakyabuzaayo okunoonyereza kwa mulundi gumu […]

Wabwire yakirizza okutta Omuyindi era teyejjusa – Fred Enanga

Omusirikale wa Uganda Police Force Police Constable Ivan Wabwire avunaanibwa ogwokutta omuwozi w’ensimbi mu Kampala olunaku lw’eggulo yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi nakirizza okutta Munnansi wa Buyindi nga agamba nti yali amulanga kumunyaga nga amubala omufuulo nti era tayejjusa kukikola. Wabwire yakwatiddwa Busia nga agezaako okufuluma Eggwanga okwolekera Kenya yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya […]

Poliisi ekutte Wabwire

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omusirikale waabwe No.67029 PC Wabwire Ivan 30 eyakuba Munnansi wa Buyindi amasasi agamuttirawo ku Raja Chambers ku Parliamentary Avenue, UTTAM BHANDARI Director wa TFS Financial Services nga bamukukunudde mu Disitulikiti y’e Busia. Flying Squad Unit ngeri wamu ne Poliisi y’omu […]

Eyasse omuyindi emmundu yagibbye ku munne – Patrick Onyango

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Police Constable Ivan Wabwire, eyakubye omuwozi w’ensimbi amasasi olunaku lw’eggulo bweyali yawerebwa okukwata ku mmundu okumala emyaka 6 olwobuzibu bwobulwadde ku bwongo era nga abadde aweebwa emirimu egitetaagisa kubeera na mmundu nga n’olunaku lweyakubye omuyindi essasi yabbye ku munne emmundu bwebabadde […]

Ebibuuzo bingi ku wa Poliisi eyasse omuyindi – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, nsaasira nnyo Abayindi olwokufiirwa omuntu waabwe Uttam Bhandari eyatiddwa omusirikale wa Uganda Police Police Constable Wabwire Ivan. Ensobi zonna ezakoleddwa nnyangu okulondoolwa. Okugeza ebibuuzo ebisookerwako; 1. Omusirikale atabadde ku mulimu olunaku olwo yatuuse atya okufuna emmundu? 2. Yafunye olukusa okuva wakuuma n’emmundu okugenda okuzza omusango? 3. Emmundu ziterekebwa […]

Abantu 3 bebakakwatibwa ku byokutta Isma – Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’abantu 3 okuli Waswa ngono abadde Ddereeva wa Isma Olaxess aka Jajja Ichuli bagiyambeko mukunoonyereza ku kukuttibwa kwa Jajja Ichuli eyakubwa amasasi. Enanga agamba nti Isma eyamutta yakozesa basitoola.

Poliisi ekutte ababbi ba piki piki e Lugoba

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kawempe bweyakutte ekibinja kyabantu abagambibwa okuba nga babadde benyigira mu kubba piki piiki ku kyalo Lugoba mu Kawempe Division. Ekikwekweto kyakoleddwa oluvannyuma lwokutemezebwako abantu abesigika. Abakwatiddwa bategeerekese nga; Mayanja Godfrey, Mukunda Charles, Asiimwe Brian, Katongole Reagan, Tamale Vincent […]

Minisita Nantaba yakyatusibye – Enanga

Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga yavuddeyo nategeeza Bannamawulire nti Omubeezi wa Minisita wa Tekinologiya Aidah Nanataba yatanaba kulabikako ku Poliisi kukola sitatimenti ye. Enanga agamba nti Nantaba yabawandiikira ebbaluwa nabategeeza nti Omukulembeze w’Eggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yamulagira obutava waka okutuusa nga amukkirizza. Enanga yagambye nti kati bijulidde Minisita w’ensonga z’omunda mu Ggwanga […]