Kitalo! Omusirikale wa Poliisi yekubye amasasi e Kassanda

Kitalo! Omusirikale wa Poliisi akubye owa UPDF e Mbarara

Kitalo! Omusirikale wa Uganda Police Force e Mbarara kigambibwa avudde mu mbeera nakuba omusirikale wa UPDF amasasi agamutiddewo. Kigambibwa nti obutakkaanya bwabwe bubaluseewo nga bali mu Mbarara Police barracks wakati w’omusirikale wa Police Field Force Unit n’omusirikale UPDF.

PC Wabwire atwaliddwa mu Kkooti

Omuserikale wa Uganda Police Force, PC Ivan Wabwire eyakuba Munnansi wa Buyindi omuwozi wa ssente Uttam Bhandari amasasi agaamuttirawo bwabadde aleetebwa ku Kkooti ya Buganda Road enkya yaleero okutandika okuwerenemba n’omusango gw’obutemu.

PC Wabwire asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road, Sarah Tusiime Bashaija asindise omuserikale wa Uganda Police Force PC Wabwire Ivan eyakuba omuyindi omuwozi w’ensimbi Uttam Bhandari amasasi agamuttirawo ku Raj Chambers mu Kampala ku Alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 7 omwezi ogujja. Omuwaabi wa Gavumenti Joan Keko ategeezezza Kkooti nti bakyabuzaayo okunoonyereza kwa mulundi gumu […]

Ab’emmundu ababadde mu byambalo ebyefaananyiriza ebya UPDF bateeze abasuubuzi e Kayunga

Uganda Police mu Disitulikiti y’e Kayunga etandise okunoonyereza ku bubbi obw’emmundu obwakoleddwa mu kiro ku bbalaza kinnya na mpindi ne CPS e Kayunga. Ayogerera Poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa Hellen Butoto agamba nti obubbi buno bwabaddewo ku sssaawa 3 ez’ekiro ku kitebe kya Disitulikiti y’e Kayunga kumpi n’ekitebe kya Poliisi e Kayunga. Omu ku babiddwa […]

Abadde avunaanibwa ogwokutta ASP Kirumirwa ayimbuddwa

Kalungi Abubaker; omusibe yekka abadde yasigala nga avunaanibwa omusango gwokutta omusirikale wa Uganda Police Force ASP Muhammad Kirumira ne mukwano gwe Nalinnya ayimbuddwa Kkooti olunaku olwaleero ngegamba nti okunoonyereza Poliisi kweyakola kwali kwakiboggwe nga kuleetawo ebibuuzo bingi kwani yatta Abantu bano 2, era wa weyabattira nalwaki.

Tulinda kiva wa DPP tulabe Minisita ki gwetuzzaako okukwata – Fred Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwebakyalindiridde ebiragiro okuva mu woofiisi ya Ssaavawaabu wa Gavumenti okumanya Minisita ki gwebaddako okukwata kwabo abenyigira mu mivuyo gy’amabaati g’e Karamoja agaali agabawejjere.

Sipiika alagidde Ssaabaminisita okuvaayo ku kyaba RDC okugaana emikolo gy’ababaka ba Opposition

Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister okuvaayo mu bwangu n’ekiwandiiko ku byokuyimiriza emikolo egitegekebwa Ababaka nga kino kikolebwa ba RDC. Kino kidiridde enkwata etali yabuntu wamu n’okutulugunyizibwa kw’omubaka Omukyala Munnakibiina kya National Unity Platform–NUP owa Disitulikiti y’e Buvuma Hon. Susan Mugabi nga kino kyakolebwa abebyokwerinda bweyali […]

Abayizi e Makerere batandise okulonda, ebyokwerinda binywezeddwa

Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF bayiiriddwa ku Ssetendekero e Makerere ng’abayizi bakuba akalulu okulonda Gulid President omuggya wamu n’abakulembeze abalala nga byonna bikoleddwa ku mutimbagano.