Gen Kayihura yomu kubagenda okuwummuzibwa mu maggye
Eyaliko Omuduumizi wa Uganda Police Force Gen. Kale Kayihura y’omu ku ba General ba UPDF abagenda okuwummula omwaka guno. Gen. Kayihura 67, y’omu ku basirikale 10 abagenda okuwummula emirimu gy’eggye ly’eggwanga mu July. Abalala kuliko; Maj. Gen. Sam Wasswa Mutesasira, Maj. Gen. Arocha Joseph, Brig. Steven Oluka, Brig. Augustine Atwooki, Lt. Col. Juma Seiko n’abalala.
Ennyonyi egudde e Kalongo mu Agago
Ennyonyi kika kya Skyvan category fixed wing, eremeredde omugoba waayo neegwa e Kalongo mu Disitulikiti y’e Agago. Abagoba bagiddwamu nga balamu nebaddusibwa mu Ddwaliro okufuna obujjanjabi. Amyuuka omwogezi w’eggye lya UPDF Col. Deo Akiiki ategeezezza nti ennyonyi eno siya UPDF.
Omulambo gwa Pte Sabiiti tujja kugubawa nga tumaze okunoonyereza
Aba Famire ya Pte Wilson Sabiiti bakyasobeddwa eka ne mu kibira nga n’okutuusa olwaleero UPDF ekyalemedde omulambo gw’omwana waabwe. Aba Famire ku Kyalo Mubali, Kajura Town Council mu Disitulikiti y’e Kabarole bagamba nti tebalina kyebaali bafunye kuva eri Gavumenti ku ddi omulambo gw’omwana waabwe lwebanagufuna. Oliver Musiimenta, mwannyina w’omugenzi agamba nti bakola dda enteekateeka z’okuziika […]
Aba Famire ya Pte Sabiiti bakyasobeddwa UPDF tenabawa mulambo ggwe
Wadde nga eyali Omubeezi wa Minisita ow’abakozi Col. Charles Engola yaziikibwa ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ye omukuumi we eyamutta, Pte Wilson Sabiiti tanaziikibwa ng’omulambo gwe eggye lya UPDF likyagulemedde. UPDF etegeezezza nga bwekyalina okunoonyereza kw’eriko ku ngeri Sabiiti gyeyafiiramu mu ‘saloon’ kwossa ekyamuviirako okuva mu mbeera n’akuba mukama we amasasi.
Ab’emmundu ababadde mu byambalo ebyefaananyiriza ebya UPDF bateeze abasuubuzi e Kayunga
Uganda Police mu Disitulikiti y’e Kayunga etandise okunoonyereza ku bubbi obw’emmundu obwakoleddwa mu kiro ku bbalaza kinnya na mpindi ne CPS e Kayunga. Ayogerera Poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa Hellen Butoto agamba nti obubbi buno bwabaddewo ku sssaawa 3 ez’ekiro ku kitebe kya Disitulikiti y’e Kayunga kumpi n’ekitebe kya Poliisi e Kayunga. Omu ku babiddwa […]
Abatuuze bakubye abasirikale ba UPDF abakola ne URA amayinja agabalumizza
Abasirikale ba UPDF abakola n’ekitongole ekivunaanyizibwa kukusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) balumiziddwa oluvannyuma lw’abatuuze ababadde babalemesa okubowa piki piki okubakuba amayinja bwebabadde bakola ekikwekweto olweggulo lwaleero
Tusonyiye Pte Sabiiti – Engola Jr
Mutabani w’omugenzi Minisita Engola, Charles Engola Jnr ku lw’abaana b’omugenzi avuddeyo nategeeza; “Kitaffe yatusomesa okusonyiwa. Njagala okutwala omukisa guno okusonyiwa Pte Wilson Sabiiti.” Pte Sabiiti yakuba Minisita Engola amasasi agamuttirawo nga 2-May mu maka ga Minisita e Kisaasi. Okusinziira ku muganda w’omugenzi nga ye Samuel Engola agamba nti muganda we bamusanzeemu amasasi 28 agamukubibwa.
Abayizi e Makerere batandise okulonda, ebyokwerinda binywezeddwa
Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF bayiiriddwa ku Ssetendekero e Makerere ng’abayizi bakuba akalulu okulonda Gulid President omuggya wamu n’abakulembeze abalala nga byonna bikoleddwa ku mutimbagano.