Taiwan ewadde Bannayuganda obujjanjabi obw’obwereere

Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga era nga y’akiikirira ekitundu kya Bukoto Central mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Edward Kiwanuka Ssekandi asiimye ab’eggwanga lya Taiwan olwokujja okuwa abantu be obujjanjabi obwabuli kika nga bwabwereere.

Ssekandi  asinzidde ku kyalo Lwemodde mu ggombolola y’e Kyesiiga mu Disitulikiti y e Masaka bw'abadde nga aggalawo olusiisira lw’ebyobulamu olukulungudde ennaku bbiri mu kitundu ekyo.

 Ategeezezza nti aba Taiwan kyonna kyebakoze bakikoze n’okwagala olw’ensonga nti tebalina nsimbi yonna ebaweereddwa wabula n’agumya banna Kyesiiga n’ebitundu ebyetooloddewo nti waakubaleeta nga buli mwaka okufuna obujjanjabi obw'obwereere.

Ye sipiika w’egombolola ye Kyesiiga Mudashiru Bbaale asiimye ekikoleddwa mwami Ssekandi wabula n’asaba Gavumenti ebayambe etuuse obujjanjabi bw’amannyo mu kitundu kyabwe.

Abatuuze b’ekitundu kino nga bakulembeddwamu Gabula Moses, Mikidaadi Lusiba, Milly Nanziri basanyukidde enteekateeka ya Vice President eyookubatuusiza obujjanjabi obulungi wabula nebamusaba abayambe akikole nga wayiseewo akabanga katono olw’ensonga nti amalwaliro gali wala nga omuntu yeetaagisa wakati wa emitwalo esatu (30000) okugenda e Masaka n’okudda okufuna obujjanjabi.

 

Leave a Reply