Omukwanaganya w’emirimu mu Kibiina kya Alliance for National Transformation-Uganda – ANT Hon. Alice Alaso avuddeyo nasaba omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba okudda eri Mukama Katonda akirize Yesu ng’omulokozi we nga obudde tebunamuyitako kuba buli muntu wakuvunaanyizibwa kwebyo byakoze ku nsi ng’omuntu.
Alaso okwogera bino kidiridde okuweebwa kkaadi emuyita ku kabaga ka mazaalibwa ga Muhoozi mu Disitulikiti y’e Soroti naategeeza nti tayinza kwetaba ku kabaga ka kika kino nga mu Malwaliro temuli ddagala so ng’ensimbi y’omuwi w’omusolo egwera mu bintu bya kika kino ebitalina makulu.