TEMUDDAMU KUWOZESEZZA BANTU BABULIJJO MU KKOOTI YAMAGGYE

Kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka olunaku olwaleero evuddeyo nessalawo eggoye ku kwemulugunya okwateekebwayo abadde Omubaka wa Nakawa Micheal Kabaziguruka ngawakanya ekyabantu babulijjo okuvunaanibwa mu Kkooti y’amaggye. Abalamuzi 4:1 bakiriziganyizza nga nkuyege nti abantu babulijjo tebaddamu okuvunaanibwa mu Kkooti eno nti era nabo abalina ebibonerezo byebaliko nga byabaweebwa Kkooti eno emisango gyabwe gigibweyo gitwalibwe mu Kkooti ezabulijjo nemisango DPP agitwale.

Leave a Reply