Ekiwayi ky’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC eky’e Katonga kifulumizza enteekateeka mwekigenda okuyita okweddiza ekibiina kino mu butongole okuli okulonda obukulembeze bw’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo, okutalaaga ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’enteekateeka endala.
Pulezidenti wa FDC ow’ekiwayi kye Katonga Erias Lukwago wano wasabidde Uganda Police Force obutatataganya nteekateeka zaabwe kubanga ziri mu mateeka.
Mungeri yeemu ono asabye bannakibiina obutetantala kwetaba mu ttabamiruka ategekebwa omwezi guno nga 6 wansi wa Ssaabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala – Mafabi gw’agamba nti ategekeddwa mu bukyamu era abanagendayo bagenda kunyumyamu mboozi.