TEMUTUWANGA KU SSENTE ZA COVID;
Direkita wa Emburara SafarisLtd Kabibi Florence Tumwebaze bavuddeyo nebawandiikira Uganda Development Board nga bemulugunya ku byafulumidde mu mpapula z’amawulire nga biraga nti Emburara yemu ku Kkampuni ezaganyuddwa mu ssente Gavumenti zewaayo okudduukirira amakkampuni agakosebwa ekirwadde kya #COVID-19.
Bano bagamba nti ensimbi zebafuna okuva mu UDB bazewola era zariko amagoba nga kiba kikyaamu okugamba nti baweebwa ssente.