Tetujja kukiriza ffujjo kutataganya Uganda – HE. Museveni

President Museveni avuddeyo naddamu ebbaluwa ya Speaker ku nsonga yabebyokwerinda okutulugunya ababaka, agambye bwati;

Nga bwokimanyi nti nakyalako mu Arua era nenoonyeza ne Nusur Tiperu akalulu ku lunaku olwasembayo nali nva ku rally nensisinkana aba Opposition nga bakulembeddwa Hon. Robert Kyagulanyi Bobi Wine nga balina grader oba baali baagala kuginkiika naye tuba twakagiyisa nempulira ebintu ebikuba emirundi ebiri ku motoka yange, era omuyambi wange nangamba nti emotoka yange bagikubye amayinja. Nalagira convoy besonyiwe abakozi beffujjo tweyongereyo awaali Helicopter kyebakola nga tebalina nasasi nalimu lyebakubye.

Kino kyoleka empisa eggye lya UPDF lyezirina, wabula nalumwa abantu betulese emabega nejagala nkibuulire DPC wabula teyaliiwo nga nsimbula bwentyo nentegeeza Brigade Commander ow’ekitundu ekyo nemugamba akolere wamu n’ebitongole ebirala okukuuma abantu ba Arua.

Bwenavaayo aba SFC nabo baddayo bayambe ku Poliisi okutereeza ekibuga kuba baali bamaze okulaga nti sibangu nga bakuba emotoka y’omukulembeze w’eggwanga amayinja, eyaliko Flag ya Uganda n’akabonero k’omukulembeze w’eggwanga. Bantegezezza nti ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abakulira okwekalakaasa kuno nabamu kubenyigira mu ffujjo lino ekyenaku munnayuganda omu yattibwa n’abalala nebalumizibwa.

Ekyali e Mityana abasirikale ba Poliisi mu kutya oba olw’obukyayi bakuba amasasi nebalumya abantu abawerako wamu n’okutta abalala babiri nga bano baali mu taxi nga tebekalakaasa bwabamanya ensobi gyebakoze nebasuulawo emmundu nebadduka. Wabula Poliisi ekola omulimu gwayo ogwokubayigga. Wabula mu Arua ne Kampala waali wabaluseewo embeera etali nnyangu nga abatujju bategese okutta abantu abawerako wabula ndi musanyufu nnyo n’engeri ebintongole byebyokerinda gyebyakwatamu embeera eno.

Ebyaliwo e Jinja East ne Bugiri nabyo byali bibi kuba abakyala bakubwa, ebintu nebyononeka era omuntu omu yattibwa nga kyava ku Babaka ba Palamenti abamu era nga basomba n’abalonzi abataali bamu kitundu okubba obululu. Bangambye nti abantu bano bagibwa mu Kampala nebatwalibwa mu bintu bino okutiisatiisa, okukuba n’okulumya abalonzi.

Kyeyoleka lwattu nti abavubuka bano abatalina byakola bakozesa enguudo zaffe ennungi nebasula mu  Hotels ennungi mu Arua ne Gulu nga zizimbiddwa ku mulembe gwa NRM nebawandiika emboozi ezisiiga Gavumenti yaffe ennungi enziro nga bakozesa Internet yaffe ennungi ennyo nga balowooza nti banazza Uganda emabega. Ekyo tekisobola kubaawo nga tukyaliwo tuzimba Uganda.

Uganda ekulira ku misinde egyayiriyiri nga era week eyise naggulawo amakolero 2 agamajaani mu Bushenyi, ekolero lya sseminti e Tororo nalya TV ne Ppaasi e Ntinda.

Yoweri kaguta Museveni

President.

Leave a Reply