Omubaka wa Mawokota North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Kiyaga Hillary Innocent aka Dr Hilderman yakulembeddemu abatuuze b’omuluka gw’e Mbazzi okuddaabiriza oluguudo lwabwe nga bayita mu bulungibwansi.
Omubaka Kiyaga agamba nti ye takiririza mu bya Gavumenti etuyambe, kwekusalawo nti nga bwebalinda Gavumenti kababeeko byebekolera nga bayita mu bulungibwansi.