Abazadde b’essomero lya Nakanyonyi Secondary School e Nakanyonyi mu Disitulikiti y’e Mukono bakalambidde ku ky’okusasulako ekitundu ku bisale by’eddwaliro ebibanjibwa essomero oluvannyuma lw’okujjanjaba abayizi abaali obubi gyebuvuddeko olw’okulya ekiteeberezebwa okubeera obutwa mu mmere.
Abazadde baakalidde mu mukulu w’essomero nebamuteegeza nti babadde basasula ebisale by’essomero kyokka ng’essomero lya Gavumenti nga n’olwekyo tebayinza kuyambako ssomero kusasula bbanja lino.