Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekisambajja ebibadde biatambuzibwa Jennifer Nakanguubi aka Fulfigure nti abasibe Bannakibiina kya NUP abayimbuddwa olunaku lw’eggulo babagobye ku ofiisi z’ekibiina.
NUP egamba nti bayaniriziddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya era nebabasasulira nentambula eyabaleese era buli omu yaweereddwa ssente z’entambula ezibatuusa ewaabwe. Rubongoya agamba nti olwokuba batuuse kiro babasuuubizza okubasisinkana balabe engeri gyebanabayambamu nga bamaze okuddingana ne famire zaabwe.
#ffemmwemmweffe