Pulezidenti Museneni ne leero akizzzemu bw’abadde ku mikola gy’olunaku lw’abakyala e kololo nti tewali muntu n’omu asobola kutabangula Yuganda yakyogera era ne kati akizzeemu .
Museveni abadde ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna nga emikolo emikulu gibumbujjidde mu kisaawe e Kololo olwa leero .
Pulezidenti Museveni azeemu okukikkaatiriza nti tewali asobola kukyankalanya ggwanga lino era nti ye essira kati agenda kuliteeka ku kukulaakulanya ggwanga lino .
Mu bubaka bwe eri abantu , yebazizza abantu bonna okumulonda ate n’okumussaamu obwesige okuddamu okumukwasa enkasi y’eggwanga lino agolomole okuweza emyaka 35 .
Ekifaananyi kya Sarah Kagingo .