tewali nsonga yagazaawo bbanka yaffe – rukikaire

Abalina emigabo mu Bbanka ya National Bank of Commerce (NBC) eyagalwawo mu September 27, 2012 Bbanka enkulu ey’eggwanga nga kigambibwa nti yali tetuukiriza kakwakulizzo k’okubeera ne Capital ow’obuwumbi ekkumi ekitono ennyo.

Bano nga bakulembeddwa Ssentebe wa Board Matthew Rukikaire, eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda John Patrick Amama Mbabazi, Amos Nzeyi n’omulamuzi Wilson Kanyeihamba bavuddeyo nebategeeza nti baagala baliyirirwe ensimbi eziwerera ddala obuwumbi 295 olw’okuba nti Bbanka yaabwe yaggalwawo mu bukyaamu.

Rukikaire ategeezezza akakiiko nti ensonga eyawebwa Bbanka enkulu teyali ntuufu kuba wakati wa 2004 – 2010, Bbanka ya NBC yali etambuza bulungi emirimu era nga ekola n’amagoba, era nga nabalinamu emigabo baali basasulwa bulungi okutuuka mu 2010.

Ono agamba nti era NBC yali etadde akakadde ka ddoola kamu n’obukadde lusanvu okuzimba ekitebe kyabwe galikwoleka, era nga yali etadde akakadde ka ddoola kamu mu obukadde bibiri okufuna software omupya owa Core Banking Software System – TEMENOS T24 eyali ateereddwamu era nga akola bulungi.

Rukikaire agamba nti Bbanka enkulu yabagamba banoonye obuwumbi musanvu oba si kyo eggalwewo era kyebakola nebazifuna mu naku 4 zokka, nebatuuza Olukiiko lwabonna era nebalonda Board empya era Bbanka enkulu negikiriza.

Rukikaire agamba nti wabula omukungu wa Bbanka enkulu eyali evunaanyizibwa kukulondoola emirimu gya Bbanka Justine Bagyenda yalagira obuwumbi omusanvu babugulemu Treasury Bills era nagaana Board n’abaddukanya NBC obutakozesa Treasury bills zino ekyazingamya emirimu gya Bbanka.

Leave a Reply