Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza enteekateeka z’okulonda kw’obukiiko bw’ebyalo wonna mu ggwanga era kugenda kubeerayo nga 21 Museenene omwaka guno era kwakusimba mu mugongo .
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga, Omulamuzi Simon Byabakama bwabadde alangirira enteekateeka eno leero mu Kalasamayanzi ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala, agambye nti tebagenda kwetaaga buyigirize bwonna wadde omunwe gw’ensimbi n’ogumu era tekugenda kubaako kkomo lya myaka eri ano abaagala okwesimbawo.
Byabakama era agamba nti okulonda kugenda kutwala eddakiika asatu gokka ng’abantu basimba mu mugongo gw’oyo gwebawagira, wabula abo abanaatuuka nga okubala kutandise tebagenda kulonda.
Ssentebe mu mbeera y’emu n’ategeeza nti okulonda kugenda kuba kwa ba Ssentebe bokka era anaaba awangudde y’agenda okwelondera ab’akakiiko ke wabula nga baakukakasibwa abatuuze.