Thomas Kwoyelo avunaanibwa emisango 78

Olwaleero Kkooti y’ensi yonna ewozesa bakalintalo mu kibuga Gulu lw’egenda okusomera eyali omuduumizi mu kabinja k’abayeekera ba LRA akakulirwa Joseph Kony, Thomas Kwoyelo emisango 78 egivunaanibwa. Kino kiddiridde Kkooti eno olunaku lw’eggulo okukakasa nti Kwoyelo alina okwewozaako oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti okuleeta obujulizi obulaga nti asaanidde okuvunaanibwa emisango egyo wabula egimu baagimuggyeko kubanga yabadde wakuvunaanibwa emisango 93. Thomas Kwoyelo avunaanibwa emisango egirimu okumenya amateeka agali ku ddaala ly’ensi yonna nga mwemuli n’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Leave a Reply