Tugenda kukwata buli eyenyigidde mu kutta omusirikale waffe – Kituuma

Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avumiridde ekikolwa ekyakoleddwa abatuuze e Ibanda abakubye omusirikale No. 75290 PC Chemonges Suleiman, 28 eyabadde agenze okuwa obukuumi mukuziika omusibe Kahangire Lazarus, eyafiira mu kkomera lya Nyabuhikye Government mu Disitulikiti y’e Ibanda.
Rusoke ategeezezza nti abo bonna abenyigidde mu kikolwa kino ekyettima bakukwatibwa era bavunaanibwe.
Leave a Reply