Akwatidde Ekibiina kya National Resistance Movement – NRM mu Kalulu ka Kawempe North Faridah Nambi, avuddeyo nategeeza nga bwagenda okukolera awamu ne Gavumenti okulaba nti Kawempe nnyonjo. Bino yabyogeredde mu zooni okuli; Lutunda, Wampampa, Kiyanja, Kikuubo ne Kitambuza mu muluka gwe Kanyanya.
Ono era yategeezezza nti wakulaba nti Kawempe efuna amasomero ga SEED, amazzi amayonjo wamu nokulaba nti ekizibu kya ssente zobupangisa ezibinikibwa abapangisa zikendeerako.
#KawempeNorthByElection
#ffemmwemmweffe