Gavumenti ekirize abazirakisa batuduukirire – Bayizi Makerere
30 — 10IGP Byakagaba atongozza okukola dduyiro mu Poliisi
30 — 10Olunaku olwaleero ekibiina kya National Unity Platform kituuzizza olukiiko lwa Bannamawulire ku kitebe e Makerere Kavule, okwogera ku nsala ya Kkooti ku bantu 18 ababuzibwawo.
Bannamateeka okuli George Musisi ne Shamim Malende bategeezezza nti Kkooti yagaanye okusaba kwabwe okwokuteeka Gavumenti ku nninga okulaba nti ereeta abantu bano ngegamba nti tewali bujulizi bulaga nti ddala Gavumenti yebalina. Bano bongeddeko nti balina enteekateeka zokujjulira mu Kkooti ezaawano ssaako nezo ez’Ensi yonna.