Minisita avunaanyizibwa ku butebenkevu Maj. Gen Jim Katugugu Muhwezi wamu ne Minisita w’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth bavuddeyo nebaanukula Akakiiko ka Palamenti aka Parliamentary Committee on Government Assurances akakulirwa Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Betty Nambooze Bakireke akayise omumyuuka w’omuduumizi w’eggye lya UPDF eryokuttaka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba alabikeko gyekali, bano bagamba nti balina obusobozi obwanukula ebibuuzo byonna ku lwomusirikale waabwe.