tujja kulwanirira ben kiwanuka – dp

DP etegeezezza nti egenda kuyungula abajjulizi okuwolereza eyali Pulezidenti wayo era Katikkiro wa Uganda eyasooka Ben Kiwanuka omulangira David Wasajja gw’alumiriza nti y’omu ku beetaba mu kubba ettaka lya Ssekabaka Edward Muteesa1 e Mutungo mu Kampala.
Pulezidenti wa DP Nobert Mao era ategeezezza nti waliwo ekibinja ky’abantu okuva e Vatican ekitandise okunoonyereza ku mugenzi Ben Kiwanuka n’ekigendererwa ky’okumufuula omutuukirivu.
Kiwanuka era eyaliko Ssabalamuzi wa Uganda yatemulwa ku mulembe gwa Idi Amin mu myaka gy’ensanvu kyokka n’ebigalirira bye teri amanyi gye biri n’okutuusa olwa leero. DP egambye nti yafunye abakugu okuva ebweru abagenda okugiyamba okubiyigga.
Bino Mao eyabadde n’abavubuka ba DP abasomera ku yunivasite e Makerere yabitegeezezza mu lukungaana lwa bannamawulire mu Kampala. Kyadiridde omulangira Wasajja okugeda mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka n’alumiriza nti Ben Kiwanuka n’abalala beetaba mu kubba ettaka lya Ssekabaka Muteesa II ng’ali mu buwanganguse.
Ensonga ziri mu kkooti era Mao yagambye nti bagenda kutwala mu kkooti obujjulizi okuva ewa Muzeeyi Simon Mwebe eyali omukung’anya w’olupapula lwa Munno,obulula okuva ewa Francis Bwengye eyaliko Ssabawandiisi wa DP, okuva mu famile ya Ben Kiwanuka n’abalala babutwale mu kkooti okunnyonnyola ebyaliwo musajja waabwe Ben Kiwanuka aleme kusiigibwa nziro.

Leave a Reply